breaking news
Ffirimbi
Bassita ba Cranes ne bannyaabwe
  • Feb 20, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
clip
Mwesigwa ne nnyina Catherine Namukwaya

Kampala

LEERO Cranes lw’etandika okutendekebwa nga yeetegekera Congo Brazaville gy’ettunka nayo mu gw’okusunsulamu abalizannya mu kikopo kya Afrika ekya 2013 e South Afrika.

Hasfah Ssonko ne Hussein Bukenya bakuleetedde abamu ku bazadde b’abazannyi abaayitiddwa mu Cranes ne bye boogera ku batabani baabwe.

Catherine Namuwaya (nnyina wa Andy Mwesigwa): Mwesigwa w’ali seetaaga kumanya birala kuba omwana oyo talina w’atantuusizza. Nze ani alinnya ennyonyi nga sisasudde.

Omwana oyo Katonda amwongere ebirungi.  Namuwaya mukyala musawo ng’akolera mu kibuga Masaka.

Hajjat Lugoloobi (maama wa Habibu Kavuma ne Ayub Kisaaliita): Mutuuze mu Makindye Lusaka. Mpulira ndi wa kitalo okulaba nga mutabani wange (Kavuma) azannyira ttiimu y’eggwanga.

Kitegeeza nti musajja wa buvunaanyizibwa ekyongera okutuweesa erinnya n’ettutumu mu nsi yonna. Mmwenyumirizaamu olw’ebyo by’ankoledde ne baganda be. Mmusabira ssaala zokka yeeyongerayo mu mawanga g’Abazungu.

Fred Lutwama (taata wa Owen Kasule): Katonda yampa Owen nga kirabo kuba musajjawattu akoze ky’asobola famire ye ebeere bulungi. Nnina abaana basatu abalala abazannya omupiira naye tebannafuna mukisa nga gwa Owen. Kati essuubi lyaffe lyonna tulirina mu ye. Annyambye n’okwongera ku sitooko y’edduuka lyange e Nakawa.

Robinah Nakityo (maama wa Henry Kalungi): Nnina abaana bangi naye tewali azannya mupiira kutuuka Kalungi. Omuntu omu okuzannya omupiira mu famire ey’abantu abasoba mu 10 siyinza butamwenyumirizaamu.

Ng’oggyeeko okutufuula ab’ettutumu, alina bingi by’atukoledde. Lwe baamuyita ku ttiimu y’eggwanga ffenna twawulira nga Uganda yonna yaffe.

Joyce Nambooze (azaala  Sula Matovu Malouda):  Mutabani wange sirina kye mmwoogerako okuggyako okumuteeramu essaala mu buli ky’akola.  Sula tasobola kwebaka nga tasoose kunkubira ssimu era ne bw’aba agenda ku kisaawe asooka kung’amba mmusabire. Nnyina wa Malouda, mutuuze w’e Nakulabye ng’atunda bitabo ku Nasser Road.

Nnaalongo Jane Nassolo (maama wa Tony Mawejje): Bannange mundeke, ebyange ne Mawejje biwanvu kuba alabika ng’omusajja omutono naye by’akola bya ttendo nnyo.

Akoze buli ekisoboka famire yaffe ebeere bulungi era kati ku kyalo bampita ‘mutabani wa muzungu’ olwa Mawejje okuzannyira mu nsi z’Abazungu. Nnyina wa Mawejje abeera Kijjabwemi mu Buddu.

Maimuna Kiiza Ruhenje (nnyina wa Hamis Diego Kiiza): Kiiza bwe yayingira omupiira nalowooza nti ayonoonese wabula omwana oyo ampeesezza ekitiibwa eky’obwereere.

Nze ani akwata omumyuka wa Pulezidenti wa Uganda mu ngalo ne nfulumira mu mawulire nga sirina kye nnakola okuggyako okuzaala omwana! Mmwaagaliza okubeera musajja omugumu ate nga muwulize.

Hajji Umar Bukenya (kitaawe wa Hamza Muwonge): Mutabani wange musajja nnyo kubanga eky’okuzannya omupiira tekyamufuula kyewaggula era mwana muwulize mu buli kimu.

Muwonge atuweesa ekitiibwa buli we tulaga olw’ettutumu lye ku ttiimu y’eggwanga. Batuuze b’e Zzana Bunnamwaya mu nfuufu.

Batunda masuuti  mu Kiyembe.

 

 

 

  • Feb 20, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola