
Poliisi ng''''erwanagana n''''abeenyididde mu kukola effujjo. Ekif: Eriya Luyimbazi
KampalaBya Joseph Mutebi, Eria Luyimbazi ne Procopios Lumu
ABASUUBUZI b’omu katale ka St Balikuddembe abawagira ekiwaayi kya J.B Kivumbi ekiwakanya Godfrey Nkajja Kayongo beezoobye ne poliisi ng’entabwe eva ku poliisi okubakwata nga bwe bavaayo okulemesa abaagala okumenya akatale kaabwe.
Ekibinja kino ekikulemberwa J.B Kivumbi baakedde kuva mu mbeera nga bagamba nti tebagenda kukkiriza muntu yenna ayogera kubyakumenya katale kaabwe nti kazimbibwe ku mutindo nga bagamba nti eno ngeri abamu gye baagala okuyitamu okubabuuzaabuza abasuubuzi bakawe abanene bakatwale.
Mu mbeera eno, ekibinja kya Kivumbi kyagaanyi abasuubuzi okuddamu okuwa empooza ne batandika okutambula akatale konna nga bava mudaala ku mudaala nga balagira abasuubuzi okuggala emidaala gyabwe okutuusa ng’ensonga zaabwe zigonjoddwa.
Bino bwe byagudde mu matu ng’enkambi ya Kayongo eyabadde ekulemberwamu Godfrey Kasiita, balumbye basajja ba Kivumbi abaabadde balemesa okuwa empooza. Ekyaddiridde kwabadde kulwanagana kyokka aba Kayongo nga bayambibwako poliisi, abantu bana baakwatiddwa. Kwabaddeko Sula Kakooza gwe baalumiriza okutabangula emirembe.

Poliisi ng’egezaako okukwata abaabadde bakola effujjo. Ekif: Joseph Mutebi
Poliisi eyabadde ekulirwa atwala poliisi ya Owino, Patrick Mugasha yayiiriddwa mu katale okukakkanya embeera n’okutangira ebiwayi byombi okulwanagana.
Kivumbi oluvannyuma yakubye olukung’aana n’asaba KCCA ebatwala eveeyo yeddize akatale kano nga bwe yakola ak’e Nakawa ne ppaaka za takisi omwali Utoda.
“Embeera eri mu katale kaffe, yeetagisa KCCA ekeddize kuba ba Kayongo abakalimu balabika baagala katunda ng’abasuubuzi tebamanyi, ” Kivumbi bwe yategeezezza.

Abasuubuzi nga beekalakaasiza mu maaso ga poliisi. Ekif: Eria Luyimbazi
Joseph Lwanga agamba nti ye ssentebe omutuufu eyalondebwa abasuubuzi ba St balikuddembe era nga Kayongo yeremeza mu ntebe ye. yagambye nti okulonda kw’alina okubeerawo mu 2008 wabula Kayongo nakulemesa nga tayagala kuva mu ntebe.
Omwogezi w’e kiwaayi kya Kayongo Wilberforce Mubiru yagambye nti akatale kaagulibwa kkampuni ya SSLOA era balinda kyapa wabula nga mu kiseera kino be balina obuyinza okusolooza empooza.