
Poliisi ng’etwala ebitundutundu by’omulambo gwa Jackie.
KampalaBya S. ZAWEDDE ne D. kulumba
AMAZE wiiki nnamba nga talabikako okutuusa abatuuze lwe bawulidde ekivundu ekyabadde kiva mu kaabuyonjo ye. Okuddamu okumulaba baagudde ku kaveera akabaddemu omulambo gwe ogwabadde gutemeddwaamu ebifi kyokka omutwe nga tegulabikako.
Ettemu lino lyabadde mu Kazo Muganzirwazza Zooni eyawula Bwaise -Kawempe ku Ggombolola y’e Nabweru mu Wakiso Disitulikiti okumpi n’essomero lya Kazo Hill East, omukyala Jackie Nakabaale (35) amaze wiiki nnamba nga talabikako bwe bazudde omulambo gwe ogwatemeddwatemeddwa ne gupakirwa mu kiveera ekyasuuliddwa mu kaabuyonjo.
Jackie abadde omu ku bakyala abasatu omugenzi Sam Nakabaale be yaleka era nga mu maka gano yagabanamu emizigo esatu okuli gw’abadde asulamu ate omusika eyategeerekeseeko erya Willy n’atwala ennyumba ennene.
"Ekivundu kyasoose kuba kitono nga tulowooza nti basudde kkapa oba mbwa mu kaabuyonjo ya landiroodi kyokka oluvannyuma kyeyo-ngedde ne tutabulwa nga tetukyalina we tuliira mmere. Wabula nnannyini kaabuyonjo Jackie nga talabikako kugiggulawo ate nga tumutya okugimenya kubanga ajja kutuyombesa.
“Okutuusa ku Ssande nga February 19 akawungeezi bwe twatuukiridde akulira eby’okwerinda mu kitundu, David Ssali, eyakkirizza ne tugimenya “omutuuze Annet Namutebi bwe yagambye.
“Twakubyeyo tookyi munda ne tulengera omukono gw’omuntu ne tutya. Twategeezezza akulira poliisi y’e Kawempe, James Ruhwezi eyasindise basajja be abaasoose okunoonyereza ekiriwo wabula obudde bwabadde buzibye ne basibawo nga tebakkiriza muntu yenna kuyingirayo era n’ekuumibwa poliisi ekiro kyonna,” Ssali bwe yategeezezza.
Enkeera poliisi yaleese abazikiriza omuliro abasimye ekinnya emabega wa kaabuyonjo ne bakkayo nga beesibye omukka gwa Oxygen ne basikayo omulambo guno ogwabadde mu kaveera. Baguyiye ku ttaka nga mutemeeteme ekyakubye abantu ensisi kyokka ne banoonya omutwe nga tegulabikako.
Poliisi yagwekebezze n’egusiba mu kaveera akaddugavu ne gutwalibwa e Mulago, poliisi yafuuzizza ennyumba ya Jackie okunoonyereza ekifo we yattiddwa naye tebasanzeemu musaayi. Baafulumizza ebintu byonna ne bafuuza ne babaliraanwa be.
Jackie Nakabaale nga bw'abadde afaanana
Baliraanwa ba Jackie abataayagadde kwatuukiriza mannya baagambye nti baakoma okumulaba ku Ssande ya wiiki ewedde ng’akola emirimu gye ekiro kubaatera kudda kiro ng’ava ku mirimu gye gy’addukanyiza ku paaka ya baasi ya Qualicel. Abadde asuubula micungwa. Ku Lwomukaaga nga Feb. 18 baalaba muganzi wa Jackie ku ssaawa nga 12.00 ez’oku makya ng’agenda.

Abamu ku baakwatiddwa.
Akulira poliisi y’e Kawempe, James Ruhwezi yagambye nti akutte abantu bana okuli; Nicholas Byaruhanga eyeeyise mwannyina w’omugenzi nga yatuuse poliisi emalirizza okufuuza n’ategeeza nga bw’abadde azze okumulabako kubanga yamukubira essimu wiiki bbiri eziyise kyokka nga leero lwasobodde okumutuukako.
Abalala nga bonna baggyiddwa awo mu maka ga Jackie era nga baganda ba Nakabaale kuliko: Hajji Buruhan Kalibbala, John Ssegawa (Atali wa Afritalent) ne Walulya.