KampalaBya Richard Mugerwa
OLUVANNYUMA lw’emyaka 15 ng’azannyira ttiimu y’eggwanga (Cranes), Ibrahim Sekaggya aginnyuse n’asalawo yeemalire ku kiraabu ye, Salzburg.
Sekaggya, 31, agambye nti ayagadde n’okuwa abazannyi abato omukisa gw’okuzannyira ku Cranes. Salzburg ya kibinja ekisooka mu Austria. Abadde kapiteeni wa Cranes okuva mu 2006.
Bobby akkirizza
Omutendesi wa Cranes, Bobby Williamson, yagambye nti Sekaggya abadde mmundu mmenye mu ttiimu ye nti kyokka tayinza kumuwaliriza kukyusa mu ndowooza kuba muntu mukulu era pulofeesono amanyi ky’akola.
Bobby agambye nti Mwesigwa gw’agenda okufuula kapiteeni omujjuvu amyukibwe Denis Onyango.
FUFA emwebazizza
Owaamawulire wa Cranes, Fred Katende ‘Malibu’, Sekaggya yawandiikidde FUFA ebbaluwa ku nsonga eno kyokka akakiiko tekannatuula kumuddamu. “Abadde kapiteeni ow’empisa era mmweebaza byonna by’atukoledde.”
Bazannyi banne
Omuzibizi wa Cranes, Godfrey Walusimbi, yagambye nti abadde mukulembeze mulungi ng’abakukumaakuma ate Mike Mityaba ne Diego Kiiza bagenda kumusaalirwa kuba abadde muwi wa magezi ng’abababuulirira.
Ateebye ggoolo 3
Bino bye bimu ku bikulu Sekaggya by’akoledde Cranes.
1 Y’omu ku bazibizi abalungi abaakazannyira mu Cranes. Mulungi mu kutomera, tasalika, ayambako mu kuluka ennumba.
2 Azannyidde Cranes emyaka 16 (okuva mu 1996 mu mpaka za CECAFA e Sudan).
Sekaggya (ku ddyo) ne Manucho owa Angola e Namboole mu 2011.
3 Agiteebedde ggoolo ssatu. Cranes ng’ekuba DR Congo 1-0 mu 2006, yateeba peneti okuwangula Nigeria 2-1 mu 2007, ne mu 2008 ng’ekuba Niger 1-0. Zonsatule zaali Namboole.
4 Mu kampeyini y’eza Afrika ezaggwa, yasubwa omupiira gumu gwokka ogwa Guinea Bissau e Namboole lwa kaadi bbiri.
5 Yasubwa ogwa Cranes ng’ekyalidde Lesotho mu 2007 ng’amaliriza ndagaano ne Salzburg eya Australia abawagizi ne banyiiga.