
Ssimbwa ne Mubiru
KampalaBya Basasi Baffe
Leero mu Liigi:
Proline - Express, Nakivubo.
Police - KCC, Namboole
Victors - Water, Kakindu
ABATENDESI Sam Ssimbwa ne Abdallah Mubiru, leero omukwano bagenda kugussa ku bbali okumala eddakiika 90 nga buli omu anoonya obuwanguzi.
Bombi baaliko bassita ba Kibuli SS ne KCC nga kati Ssimbwa atendeka Express ate Mubiru wa Proline. Ssimbwa ayita Mubiru ‘muko’ kubanga muka Ssimbwa (atali Sophie Nantongo) yeddira Mmamba, omuziro gwa Mubiru.
Mu 1996, Ssimbwa yaliko maneja wa KCC nga Mubiru muzannyi ate mu 2001 bombi baatendekako Military Police. Mubiru ayagala kulaga Ssimbwa nti ne gw’ozadde akukubira eng’oma n’ozina.
Leero mu Bell Uganda Cup:
St Mary’s - URA, Makerere
Boroboro - BIDCO, Lira
Maroons - Entebbe, Luzira
URA FC, eyawuttudde Lesotho Correction Services (3-0) mu za Afrika ku Lwomukaaga, ekomyewo mu nsiike ng’ekyalira St. Mary’s FC mu ‘Bell Uganda Cup’.
Omupiira guno guli ku kisaawe kya Nsibirwa Hall mu yunivasite y’e Makerere.