breaking news
Abawandiisi bo
Webb yadibaze omupiira gwa Sunderland ne Arsenal
  • Feb 21, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
clip
Ali Tomusange

Kampala

HOWARD Webb, ddiifiri eyalamula fayinolo ya World Cup e South Afrika era nga yalondebwa dda okulamula ‘Euro 2012’, ye yalamudde Sunderland ng’ekuba Arsenal ggoolo 2-0.

Webb tayimirizayimiriza muzannyo era awewa ebisobyo bingi. Mu ddakiika ey’e 10, Song owa Arsenal yakutte mu ntabwe Webb n’atamulaba kuwa Sunderland peneti. Ate mu ya 31, O’Shea owa Sunderland, yakubye Van Persie mu ntabwe ekyabadde kirabika ennyo kyokka n’awewa!

Zzo kaadi ze yagugabiddemu zaagwanidde wadde nga O’Shea ne Michael Turner bandifunye nabo kuba baakubye nnyo Van Persie endobo. Djouruo owa Arsenal naye yawonye kaadi, olw’okutwalira Sessegnonamagulu abiri.

Wabula Webb yakoze bulungi mu ddakiika eya 57, obutawa Sunderland peneti ng’omupiira gwekoonye ku mukono gwa Vermaelen ng’ali ku lukoloboze lwa ‘bbookisi’.

Mu ddakiika ey’e 67, Oshea ng’ali mu kulunda Van Persie obute, yazzeemu okumukwata mu ntabwe n’amulemesa okutambula. Webb era yammye Arsenal peneti! Ggoolo za Richardson ne Chamberlain gye yeeteebye, zaabadde nnungi.

Chelsea 1-1 Birmingham
Peneti ddiifiri Artkinson gye yawadde Chelsea mu ddakiika eya 21 yabadde ntuufu.

atomusange@yahoo.com
0772624258

  • Feb 21, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola