breaking news
Agawanonawali
Eyabbiddwa mu takisi abakwasizza
  • Feb 21, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
clip
Kato (ku kkono) ne munne ku mpingu.

Kampala

POLIISI y’e Nateete ekutte abasajja babiri abatakisi UAM 426C dereeva ne kondakita we abagambibwa okugezaako okukuba omuntu n’ekigendererwa ky’okumutta.

Abasajja bano okuli eyategeerekeseeko erya Kato ne munne ataategeerekese mannya nga bakolera ku luguudo lw’e Mityana baakuba omukozi wa ggombolola ya Wakiso.

Yali asooloza omusolo bwe yabayimiriza, yalinnya mmotoka mwe baali ababiri wabula ne bamwefuulira mu kkubo ne batandika okumukuba n’azirika ne bamubbako emitwalo 60, essimu, pamiti n’obutabo bwa tikiti z’omusolo bwe yalina.

Baamuvuga nga balowooza afudde ne bamutwala mu kitoogo e Buyala gye baamusuula wabula n’adda engulu.

Oluvannyuma yagenda ku poliisi e Buloba n’aggulawo omusango ku fayiro SD/16/14/02/2012. Baasangiddwa ku Total e Nateete ku Lwokusatu ne bakwatibwa.
 

  • Feb 21, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola