
Akatale akaliko obuzibu.
KampalaABASUUBUZI abakolere mu katale ka Nabugabo Street Vendors Assiociation e Kanyanya mu Lutunda zooni basattira oluvannyuma lw’okubalukawo obutakkaanya wakati wa Meeya wa Kawempe, Hajji Mubarak Munyagwa ne nnannyini kifo George Baguma.
Akatale kano kaateekebwawo Munyagwa ng’ayagala abasuubuzi abaali bakolera e Wandegeya, n’abagobwa ku nguudo z’omu Kampala bakakoleremu nga kati Munyagwa agamba nti akyalinamu obuyinza obukaddukanya wadde endagaano yaggwaako ekitabudde Baguma ng’agamba nti okuggyako nga Munyagwa ayagala kukozesa lukujjukujju kutwala kifo kyabwe kubanga endagaano gye baakola yaggwaako.
Sam Mwesigye mutabani wa Baguma yategeezezza nti baakola endagaano nga October 15, 2011 nga ya myezi esatu ekitegeeza nti yaggwaako December 15, 2011. Akatale kali ku yiika 2 ng’awamu kalimu emidaala 1,222 kyokka ng’abasubuzi bali 100.
Munyagwa yategeezezza nti Mwesigye tamumanyi era takolaganangako naye amaanyi Baguma, kyokka ne Baguma yamwegaanyi ng’agamba yamukwasa Mwesigye gw’aba akolagana naye.
Poliisi yawadde Munyagwa ne basajja be ebbaluwa obutaddamu kulinnya mu katale kyawakanya. nga meeya w’ekitundu.
Lemisa