
Sseagawa mu (katono) n'ekizimbe kya wooteeri gy'atuumye Protea
KampalaKITUUFU omusuubuzi w’engoye z’abakyala n’abaana mu Kikuubo, Peter Segawa e Masaka yavaayo asiibudde.
We twogerera ng’ebitaala bimutadde bw’agugumudde wooteeri amakula ku luguudo lw’e Ntebe. Agituumye Protea Hotel era buli agirabako agitenda.
Segawa Kampala yamuyingira mu 1992 era okuva olwo azze atoba n’ensi okutuusa ebitaala lwe bimutadde era mu butuufu kati takyasabirwa.