
Frida ng’akutte ku ttama.
KampalaOmubaka w’e Masaka Frida Mubanda alabika ennaku zino alina ebirowoozo bingi.
Ku Lwokusatu oluwedde yalabiseeko mu palamenti naye obwedda banne bateesa nga ye akutte ku ttama ekyaleetedde abaamulabye okwebuuza ekizibu ekimutawaanya.
Wabula abalala obwedda bagamba nti yabadde atadde mutima ku bye bateesaako era wano yabadde yeetegereza muteesa yabadde ku kazindaalo.