breaking news
Amawulire
Museveni ssi wakuvaako kati - RDC Ssekabanja
  • Feb 21, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
clip
RDC w''e Rukungiri, Edward Ssekabanja ng''assa abantu enseko bwe yabagambye nti Museveni ssi wa

Kampala

Bya Henry Ssennyondo   

RDC mu Disitulikiti y'e Rukungiri, Edward Ssekabanja agambye nti Pulezidenti Museveni tagenda kunnyuka kati bukulembeze bwa ggwanga lino n'agamba abo abakirowoozaako, bali mu birooto n'abawa amagezi bagende banuune ku vvu.

“Eno gavumenti ya NRM ne Pulezidenti Museveni ssi waakuvaako kati. Ebyo, eby'okuvaako bijja kutandika okulowoozebwako mu 2021 sso si kati” Ssekabanja bwe yategeezezza. Yabadde ayogerera mu lukiiko olwakubiddwa mu Nakinyuguzi Zooni kulw'e Salaama Olwomukaaga.

N'agattako nti ekirungi kya gavumenti eno, buli ekisanja kya Museveni lwe kinaggwaako nga bassaawo okulonda, abantu nga baddamu okumuyiira obululu kubanga eyo ye demokulase NRM gye yalwanirira.

Ssekabanja yagambye nti Uganda ekyetaaga omukulembeze alinga Museveni alina okulumirirwa ensi ye. N'agamba nti kati bakyetegereza ani ayinza okumuddira mu bigere, era we banaatuukira mu 2021 bajja kuba bamaze okukuba ttooki mw'ayinza okumusikira.

  • Feb 21, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola