breaking news
Masaka
Kajubi asindikiddwa mu Kkooti Enkulu ku kutemula omwana Kasirye
  • Feb 21, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
clip
Kajubi mu kaguli.

Kampala

Bya Ali Mambule

KYADDAAKI nnaggagga Godfrey Kato Kajubi asindikiddwa mu kkooti enkulu e Masaka okutandika okuvunaanibwa omusango mw’agambibwa okwekobaana n’omusamize Umar Bosco Kateregga okusaddaaka omwana Joseph Kasirye.

Kajubi yabadde asindikiddwa ku limanda okutuusa nga February 29 omwaka guno kyokka fayiro y’omusango gwe n’eyitibwa mangu mu kkooti y’omulamuzi Fortunate Kamukama ow’eddaala eryokubiri e Masaka n’esomebwa nga yaakaggyibwa ew’akulira okuwaaba emisango gya Gavumenti.

Kajubi olwatuusiddwa mu kkooti n’addamu buto okusomebwa omusango gw’okusaddaaka omwana Joseph Kasirye eyali abeera e Kayugi mu Ggombolola y’e Mukungwe e Masaka mu October wa 2008. Omulamuzi yamugaanyi okubaako ky’anyega n’ategeeza nti waakusimbibwa mu kkooti enkulu e Masaka mu lutuula lwayo olunaddako.

Omusango guno gwawozesebwa omulamuzi wa Kkooti Enkulu e Masaka, Moses Mukiibi eyayimbula Kateregga ne mukazi we Nabukeera ate Kajubi eyali agusigaddeko obw’omu naye oluvannyuma kkooti n’emuyimbula ng’oludda oluwaabi lulemereddwa okuleeta obujulizi obumulumika.

Oluvannyuma Gavumenti yajulira era kkooti ejulirwamu n’eragira Kajubi addemu okukwatibwa y’ensonga lwaki nate ali mu kkooti olwaleero.

  • Feb 21, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola