
Mutebile
KampalaBya Ahmed Kateregga ne Muwanga Kakooza
ABABAKA ba Paalamenti ab'akabondo ka NRM beesaze akajegere nga baagala Gavana wa Bank of Uganda Mw. Emmanuel Tumusiime Mutebile naye awalirizibwe okulekulira nga bwe gwabadde ku baabadde baminista; Dr. Khiddu Makubuya ne Hajjati Syda Bumba.
Mu lutuula lw'akabondo kano olwabadde mu maka g'obwapoulezidenti e Ntebe mu kiro ekyakeesezza eggulo, ababaka abawerako naddala abava mu Buganda, beewuunyizza okulaba nga gavumenti esenza luti Makubuya ne Bumba, kyokka n'etandika okwagala okutaasa Mutebile.
Minista w'ebyamayumba n'okukulakulanya ebibuga nga kati y'akuuma ekya Nampala wa gavumenti mu Paalamenti Mw. Daudi Migereko, n'omumyuka wa ssentebe w'akabondo ka NRM Mw. David Bahati, bakkirizza nti kituufu ababaka abasinga baabadde baagala Mutebile alekulire wamu ne Bumba ne Makubuya awatali kakwakkulizo konna, nti kyokka ne kisalwawo amale okusisinkana akakiiko ka baminisita akakulirwa Minista w'ebyokwerinda Dr.Crispus Kiyonga.
Lipoota y'akakiiko akabuulirizza ku ngeri Hassan Basajjabalaba gye yasasulwamu obuwumbi 169/- egamba nti Makubuya, Bumba, Mutebile n'abalala basaana bagobwe, bavunaanibwe era basesemezebwe ensimbi ezo. Bumba ne Makubuya baamaze okulekulira naye nga waliwo okwemulugunya nti Mutebile n'abalala gavumenti eyagala kubasuulira tawulo.
Mw. Migereko eky'okugamba nti gavumenti eyagala kubasuulira tawulo yakiwakanyizza n'agamba nti ekituufi kiri nti Muteebile asaanidde okumala okusisinkana akakiiko nga bwe gwali ku Bumba ne Makubuya nga tebannalekulira.
Bagambye nti ekirala ekyabadde mu lukiiko ye Pulezidenti okulaga obunyiivu olw'omuntu omu eyawandiikira Katikkiro wa Bungereza David Cameroon ng'amusaba kampuni ya Tullow Oil ereme kukola ndagaano za mafuta ga Uganda nti kubanga zaali zimenya mateeka.
"Pulezidenti agamba okwemulugunya ng'okwo kwandibadde kukolebwa eri ye oba eri Paalamenti so ssi mu gwanga ery'ebunaayira," bw'atyo Migereko bwe yagambye n'agattako nti gavumenti etandise okumubuulirizaako.
Akabondo era kaataddewo n'akakiiko akagenda okubuuliriza ekyawanguzza NRM e Jinja. Newankubadde Mw. Migereko asongwamu olunwe nti okulumagana kwe ne Sipiika Rebecca Kadaga kye kimu ku by'abawanguzza, kino teyakyogeddeko