breaking news
Ag’eggwanga
Kkampeyini z'e Makerere zitandise
  • Feb 21, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
clip
Denis Mukasa Mbidde ng'atongoza kkampeyini za Ivan Timothy Kata eyesimbyewo ku kaadi ya DP.Ekif: Be

Kampala

Bya Benjamin Ssebaggala

MAKERERE Yunivaasite eweze bannabyabufuzi ab'ebibiina eby'enjawulo okuva ebweru wa Makerere obuitaddamu kwetaba mu kunoonyeza akalulu abeesimbyewo okuvuganya ku kifo kya 'Giuld President' bw'e Makerere mu mwaka 2012/2013.

Abayizi 11 be beesimbyewo mu bibiina eby'enjawulo songa abamu tebaliba bibiina nga ku bano kuliko omuwala omu Elizabeth Namirembe eyesimbiddiwo mu kibiina kya Uganda Federal Alliance (UFA) ekya Betty Kamya.

Aba DP abasimbyewo Ivan Timothy Kata baajeemedde ekiragiro ky'akakiiko k'eby'okulonda akakulemberwa Deogratious Kirya ne baleeta munnamateeka w'ekibiina Denis Mukasa Mbidde n'atongoza kampeyini ze ku Micheal Hall ku Lwokubiri.

Mbidde ng'awerekerwako kansala Bernard Luyiga yagambye nti akakiiko kano okugaana bannabyabufuzi okwetaba mu kampeyini z'e Makerere ng'ate abayizi bakkiriziddwa okuvuganyiza mu bibiina byabwe kiba kikontana ne ssemateeka wa Uganda mu buwaayiro obufuga ebibiina by'eby'obufuzi.

Abalala abali mu lwokaano kuliko:Joshua Nahurira owa NRM, Sadat Maseruka CP, John Paul Rubagumya wa FDC, Ivan Nankunda Kategaya, Nathern Kintu ne Paul Kigongo Sekidde  abatalina bibiina wamu n'abalala.

Okuvuganya kwatandise n'okukuba enkung'aana mu butongole ku Lwokubiri ku University Hall wabula mu lukung'aana lw'abamawulire Kirya akulira akakiiko k'eby'okulonda yategeezezza nti ey'esimbyewo yenna anakolera ebweru wa semateeka abafuga tebajja kulonzalonza kumuggya mu lwokaano. Okulonda kwa March 9 2012.

  • Feb 21, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola