
Besigye nga yeezooba n'Abapoliisi. Ekif: Francis Emorut
KampalaBya Joseph Mutebi
KIIZA Besigye n'omuyambi we bafunye ebisago ku magulu Poliisi bw'egumbuludde abawagizi b'ebibiina ababadde bagenda okukuba olukung'aana mu kisaawe e Katwe.
Ate Omubaka omukyala owa Kampala, Nabirah Ssempala eggulo yabadde ku kapiira mu ddwaaliro lya Case Clinic.
Entabwe yavudde ku lukung'aana olwabadde luyitiddwa abomukago gwa A4C ku kasaawe e Katwe mu katale wabula Besigye bwe yatuuse n'ekibinja kye yakulembedde nga bulijjo enkola yabwe basoose kulya mmere mu katale. Okulya emmere yabadde ne Meeya w'e Kawempe Mubarak Munyagwa, akulira abakyala mu FDC, Ingrid Turinawe, omubaka omukyala owa Kampala, Nabirah n'omuyambi wa Besigye, Francis Mwijukye naye eyalumiziddwa ku kisambi.

Besigye ng'alya emmere mu katale e Katwe. Ekif: Francis Emorut

Besigye (asembye ku kisenge) n’abalala nga balya e Katwe. Ekif: Francis Emorut
Yasoose kwogerera mu katale n'akunga abasuubuzi bagende mu kisaawe beetabe mu lukung'aana mu kisaawe.
Baabadde bakatuuka mu kisaawe ssaawa nga 10:00 ez'olw'eggulo, aduumira poliisi mu bitundu ebyo RPC, Phillp Okaye n'atuukirira Besigye n'amutegeeza nga bw'ayimirizza olukung'aana luno okugenda mu maaso Besigye n'atamuddamu.
Wano Okaye w'ayimukidde n'alagira basajja be abapoliisi okugumbulula nnamungi w'omuntu abadde yeyiye ku kasaawe e Katwe.

Poliisi ng'ekuba ttiyaggaasi okugumbulula abantu abaabadde bakungaanidde mu kisaawe. Ekif: Francis Emorut

Poliisi ng'ekuba ttiyaggaasi okugumbulula abantu abaabadde bakungaanidde mu kisaawe. Ekif: Francis Emorut

Omupoliisi ng'ali bulindaala n'emmundu. Ekif: Francis Emorut
Abawagizi ba Besigye abamu bwe baatandise okudduka balonze amayinja ne batandika okukuba poliisi naayo kwe kuva mu mbeera n'ebakubamu omukka ogubalaagala ssaako okubakuba ne kibooko.
Nabirah Naggayi ayingidde mu mmotoka ye poliisi n'ekasukamu obukebe bwa tiyagasi ogumubalaagadde ennyo ogwamuyisiza obubbi n'aduusibwa mu ddwaaliro lya Case Clinic ku Buganda Road ne bamuteeka ku kapiira ka 'oxygen' okumuyambako okussa.

Omuserikale wa poliisi ng'akaalakaala n'emmundu. Ekif: Francis Emorut

Besigye nga yeezooba n'abapoliisi.Ekif: Francic Emorut

Besigye nga yeezooba n'abapoliisi.Ekif: Francis Emorut
Ye omuyambi wa Besigye. Francis Mwijuki agamba nti abaserikale baamukubye essasi ly'ekipiira ne limuyuza ekisambi n'empale gy'abaddemu. Turinawe ye nti Poliisi yamufuuyidde kamulali mu mmotoka ye.
Besigye yategeezezza nti teyasoose kumanya nti afunye ekiwundu wabula bwe yavuze okugenda ku ddwaaliro lya Case Clinic okulaba banne gye yategeredde nti naye yalumiziddwa ng'alaba omusaayi gumuva mu ntumbwe.
.jpg)
Besigye ng'alaga omubaka Alice Alaso ekiwundu kye yafunye wakati mu kanyoolagano ne poliisi. Ekif: Joseph Mutebi

Omuyambi wa Besigye ng’alaga ekiwundu. Ekif: Francis Emorut
Okwetegerezza nga ndaba ekipapajjo ekiringa ekya guluneti kindi mu nnyama abasawo ne bakisikaayo, bwatyo Besigye yategeezezza.
Kyokka omwogezi wa poliisi mu ggwanga Asuman Mugyenyi yategeezezza nti Besigye ne banne bali mu katemba kubanga ku Case Clinic gye babajanjabira naye abaddeyo nga tebalina kiwundu kyonna.

Nabirah ng'ali mu bupiira bwa oxgyen ku ddwaaliro lya Case Clinic mu Kampala oluvannyuma lw'okulumizibwa omukka ogubalagala. Ekif: Joseph Mutebi

Ngrid Turinaawe ng'ali mu ddwaaliro lya Case Clinic oluvannyuma lw'okumira omukka ogubalagala mu bungi. Ekif: Joseph Mutebi

Abamu ku babaka ba paalamanti ku ludda oluvuganya gavumenti nga bagenze mu ddwaaliro okulambula ku Besigye ne banne. Ekif: Joseph Mutebi
Bwe baba balina ekiwundu ago mayinja ga bawagizi baabwe ge gaabakwasizza kubanga naffe waliwo abaserilake baffe abaakubiddwa, Mugyenyi bwe yagambye.
Besigye yeerayiridde nti wadde poliisi egenda mu maaso n'okubatulugunya naye ye tagenda kuggwamu maanyi kubanga ne leero agenda kukuba mu lukung'aana ku Kaleerwe.