breaking news
Bugwanjuba
Nja kulwanirira abakiise ku nkiiko za disitulikiti - Kadaga
  • Feb 21, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
Kampala

Bya  Ali  Wasswa

SIPIIKA wa Palamenti, Muky. Rebecca  Kadaga agambye nti agenda kukola ekisoboka okulaba ng’abakiise ku nkiiko za Disitulikiti bayambibwa basobole okukiikirira abantu obulungi.

“Tugenda kutondawo ekibiina ekigatta abakiise bano ekijja okubayamba okubalwanirira  n’okubasobozesa okutambuza emirimu gyabwe,” Kadaga bwe yagambye. 

Yabyogeredde mu kibangirizi ky’oku kitebe kya  Disitulikiti y’e Ntungamo mu kusaba n’okwebaza okwategekeddwa omubaka akiikirira Disitulikiti eno, Muky. Naume Kabasharita nga yeebaza Katonda okumutuusa ku kifo kino.

Omulabirizi w’e Ntungamo, Nathan Ahimbisibwe ye yakulembeddemu okusaba ku mukolo guno. Muky. Kadaga ng’ayogera ku kya Palamenti, yagambye nti musanyufu okulaba ng’ababaka bakola bumu nga tebeekutuddeemu ku nsonga zonna.

Yasiimye abantu b’e Ntungamo okulonda  Muky. Kabasharira wadde abadde amaze emyaka 10 nga tali mu Palamenti.
Omubaka Kabasharira yategeezezza nti abadde alina okusiima kuba ayise mu buzibu okutuuka ku kifo kino oluvannyuma lw’abamu okumulimirira  n’okugulirira bamulemese.

Omukolo gwetabiddwako abakiise abaasobye mu 50 omwabadde n’abebibiina ekya FDC ne DP.  Abakiise bano nga bayita mu mubaka Gerald Karuhanga basabye Kadaga okubeera omugumu awamu n’obutagezaako kuyuuzibwa muyaga

  • Feb 21, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola