
Julius Ogwang owa Express (ku kkono) nga bumwefuka ne Joshua Kabale mu gwa liigi gye buvuddeko e Wankulukuku.
KampalaBya BASASI BAFFE
Mu liigi:
Proline 1-0 Express
Police 0-1 KCC
Victors 1-1 Water
Mu Bell Uganda Cup:
St. Mary’s 0-1 URA
Boroboro 1-0 BIDCO
Maroons 3-1 Entebbe
Leero mu liigi:
SC Villa - Hoima Busia, Nakivubo
ABUBAKER Tabula, eyaliko emmunyeenye ya Cranes, eggulo yalaze nti akyalimu ssupu bwe yateebedde Proline ng’emegga Express (1-0) e Nakivubo.
Omutendesi wa Proline, Abdallah Mubiru yategeezezza ng’obuwanguzi buno bwe buwadde abazannyi be amaanyi okuva mu kiyongobero ky’okuwuttulwa Bunnamwaya (3-0) wiiki ewedde.
E Namboole, aba KCC balula oluvannyuma lw’okusimattuka Police (gye baakubye 1-0). Joseph Ocaya ye yateebedde KCC peneti wabula balina okwebaza ennyo omukwasi waabwe Godfrey Wakabu bakira abataasa ku nnumba za Police ez’omujjirano.
E Kakindu, Victors ne Water benkanyizza evvumbe (1-1).
Ate mu Bell Uganda Cup, ggoolo ya Ali Feni ye yatakkuluzza URA FC ku St. Mary’s, eyabadde egifuukidde olukokobe.