Kampala
GEORGE Opiyo Abege, muteebi mu ttiimu y’ebyamakomera (Maroons FC), evuganyiza mu ‘Super’. Yanyumirizza RICHARD MUGERWA bwe yasimattuka okuttibwa kyewaggula Kony n’omuwala amulya obwongo;
NDI mulongo kyokka ssaalaba ku mulongo munnange kuba yafa baakatuzaala. Nazaalibwa Kochgoma e Gulu mu Acholi mu 1992 era nze muggalanda. Tuli abalenzi basatu n’abawala babiri mu bakadde baffe, Rose Atek (69) ne Alex Otim (73) abalimi b’e Gulu.
Nsomedde Kochgoma Primary, Kochgoma SS, Kibuli SS nga kati ndi mu yunivasite e Gulu.
KCC yandyazaamaanya
Okuva obuto nga njagala nnyo omupiira era gwankubya emiggo kuba maama yali tayagala nguzannye ng’atya nti gujja kunnemesa okusoma.
Opiyo ng'ali mu mujoozi gwa Maroons.
Ye taata yali agunjagaliza kuba yazannyanga bbaaka era ku kyalo be baali bassita.
Nali nzannya nnamba ttaano kyokka mu mpaka z’amasomero mu 2006, omuteebi waffe yalwala omutendesi n’ankaka okuzannya ku kyoto. Ggoolo yange esooka nagiteebera Kochgoma SS nga tuzannya Bp McCallister e Masindi.
Mu Kibuli SS gye nasooka okumanyibwa, mu 2007 ne ng’enda Maroons FC ate mu 2009, nneegatta ku KCC ne nvaayo olw’obusungu, anti nabazannyira emyezi ena naye bansasula emitwalo 20 zokka! N’ebisale bya yunivasitte bye beetema okunsasulira byabalema. Nga ndi ne Gulu University, twazannya mu ‘Big League’ mwe nvudde okuddayo mu Maroons.
Omupiira ogukyasinze okunnyumira gwa Water FC mwe nateebera ggoolo bbiri nga zonna ‘makula’.
Real ensula ku mutima
Mu biseera eby’eddembe, nnyumirwa kulaba mupiira era mpagira Real Madrid ne Maroons. Nsinga kuwoomerwa nkoko na bummonde buzungu. Sinywa bbiya n’olusu lumpisa bubi.
Omuwala andya obwongo
Siri mufumbo naye nnina mwana muwala Jamiyah Nassali andya obwongo. Twasisinkana Kibuli SS mu 2009 nga mubasi era ye yanjagaza okubaka.
Olw’obusirise, nalwawo okumwatulira ekyama kyange. Lumu namusanga gye bagabira emmere mu kifo ky’okwatula namusaba kumpandiikira ku ‘notisi’. Omutima gwali tegunteerera okutuusa lwe nawandiika akapapula ne nkawa mukwano gwe akamuwe, Katonda n’annyamba n’anzikiriza. E Kibuli nali ntya bazadde be okututegeera naye kati ndi musajja njagala kumuwasa.
Nsimattuka Kony
Eddalu mu buto lyali linsudde awabi. Kony yazingko Gulu nga tusula mu nkambi okumpi ne balakisi y’amagye.Abaana abato twagoberere abayizzi nga tebamanyi nti tubavaako mabega.
Twawulira emiranga nga tweyongera gye giva ne tulengera abasala abantu. Baatugoba nze ne mukwano gwange ffe twawona abalala baabatta. Siryerabira lunaku mukulu waffe mu kika lwe yattibwa abayeekera ng’ava okumperekera ku ssomero ne bamutemaatema. Bazadde ba Opiyo
Omupiira ngufunyeemu
Singa si mupiira, sandimanyiddwa ate gunsomesezza okutuuka ku yunivasite. Ekirooto kyange kya kuzannyirako ku ttiimu ya ggwanga Cranes.