KampalaOmuwala asobola okubuuka omwezi nga tagenze mu nsonga z’abakyala?
Kino kyabulijjo nnyo era kibeerawo. Kino tekituuka ku bawala bokka wabula n’abakyala abakulu bakifuna.
Kino kibaawo singa ebisu by’amagi byombi tebisuula ggi ekitegeeza nti nnabaana eba tegenda kwetegekera lubuto era oba tolina kulwala.
Ekirala singa omubiri gwo gubeera tegweyagala bulungi okugeza nga tolya bulungi, oli mulwadde, oba okuba omweraliikirivu ennyo nawo oyinza obutalwala. Genda ew’omusawo akukebere omanye ekituufu.