breaking news
Ssenga
Emize gy’omusajja gyamunnemesa
  • Feb 22, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
Kampala

NZE Prossy Nabaggala, mbeera Nansana mu Wakiso.

Obufumbo bwange tebwangenda bulungi lwa nsonga nti munnange katonda gwe yanjagaliza yalina emize egyannema okugumiikiriza.

Yali musajja mucakaze, mwenzi ate nga mukodo nnyo. Ebyo nnali mbigumidde ekyampangula ne nsalawo omusajja mmwesonyiwe kwe kumusanga ng’atudde n’omukazi ku buliri bwange.

Bino okubaawo kwolwo yakeera kuntuma mu kifo ekimu. Nze nno saamanya nti yali ansalira magezi asobole okuleeta bakazi we mu nju. Gye yantuuma saalwayo era ng’enda okudda eka nga ku buliri bwange kutuddeko omukazi owe’olubuto ng’alina n’omwana omulala.

Omusajja bwe yandaba yatya nnyo era bwe namubuuza omukazi kyakola ku buliri bwange ebigambo ne bimubulira ku matama.       

Twatuula mu nsonga zino n’abooluganda kyokka omusajja teyafaayo kunneetondera. Wano omutima gwange gwamalirira ne nsalawo omusajja mmwesonyiwe era ne mmuviira nga sikyayinza kugumira bwenzi bwe.

Kati mwaka mulamba bukya twawukana era kati mbeera nsaba Katonda ampe omusajja omutuufu.

Bwe wabaayo omwetegefu okuntwala, alina empisa ate nga nange ampa ekitiibwa nga mukyala we kuba ku ssimu eno:  0715209099 tusisinkane twogere mu buntu.
 

  • Feb 22, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola