
Lukwago (ku kkono) ne Muky. Musisi nga basikang’ana mu ngalo. Owookubiri ku kkono ye mubaka Mugume n’omubaka Florence Kintu (ku ddyo).
KampalaBya Muwanga Kakooza
ABABAKA ba palamenti bawagidde pulojekiti ya bbaasi ezaaleteddwa okuwewula ku ntambula mu Kamnpala n’emiriraano egende mu maaso.
Ate enseko zaajuze okutta abalabi, ababaka ba palamenti bwe baagambye loodi meeya wa Kampala, Erias Lukwago n’akulira ekibuga Jeniffer Musisi okusikang’ana mu mikono oluvannyuma lw’okubalangira nti obutakkaanya bwabwe bwe buvuddeko okuzing’amya enzirukanya y’emirimu mu Kampala.
Muky. Musisi yagambye nti bbaasi tezijja kutandika nga March 1 nga bwe kyasuubizibwa olw’ebizibu ebitali bimu ebizzeewo kyokka n’agamba nti KCCA egenda kukolagana n’aba Pioneer abaleeta bbaasi n’abalala abakwatibwako okulaba ng’entambula eno etandika mu bwangu.
Bino byabadde mu kakiiko ka palamenti aka Gavumenti z’ebitundu akakubiriziddwa Muky. Florence Kintu (Kalungu) ababaka bwe baalangidde Lukwago ne Musisi okuzing’amya emirimu gya Kampala omuli n’eby’okuleeta bbaasi nga bali mu kuneneng’ana.
Minisita w’oludda oluvuganya avunaanyizibwa ku gavumenti z’ebitundu Roland Mugume (Rukungiri) ye yabadde emmanduso y’okulangira Lukwago obutakolagana na Musisi n’agamba nti ‘’(meeya) Lukwago ne Musisi bonna balooya naye tebalabagana maaso ku maaso. Neewunya nnyo okulaba nga loodi meeya yajja wano n’agamba nti talabanga ku ndagaano ya Pioneer ne KCC (eyakolebwa mu 2010).Twagala bakwatagane zitunule mu ndagaano ebintu bitambule’’.
Yawagiddwa ababaka abawerako okwabadde ne Muky. Florence Kintu eyagambye nti Lukwago ne Jeniffer balina okukolagana era babasuubira okukwataganako mu ngalo ng’okuteesa kuwedde. ‘‘Mumaleewo enkaayana pulojekiti ya bbaasi egende maaso’’ bwatyo bwe yagambye.
Omumyuka wa ssentebe w’akakiiko Rapheal Magyezi (Igara West) naye yayongedde okubeezingako basikang’ane mu mikono. Ate Roland Mugume naye n’addamu nti tajja kuvaawo nga tebatabaganye olwo kwe kugenda n’ayita Lukwago n’abayimirira wakati ne babagamba okusikangana mu mikono enseko ne zitta abalabi.
Mu lukiiko Jeniffer Musisi yagambye nti waliwo obuzibuzibu obukyalemesezza bbaasi okutandika kyokka bugenda kukolwako. Mu buno mulimu obuzibu obukyali mu ndagaano eno ne Pioneer eyaggwaako kyokka ng’esobola okutereezebwa enjuyi ezikwatibwako pulojekiti n’egenda mu maaso.
Yayongedde nti enguudo omuyitibwa bbaasi tezinnaba kumalibwa era ne siteegi awagenda okutuula abalinda bbaasi nazo zikyakolwako. Engendo bbaasi gye zirina okugenda nazo zikyakolebwako sso nga n’ebibuga ebyetoolodde Kampala nga Kira , Mukono, Nansana ne Wakiso nabyo ababikulembera beetaaga okuteesa nabo kuba nayo bbaasi zigenda kuyitayo.