breaking news
Amawulire
Aba bbaasi za Pioneer balaze ssente ze banaasasuza abasaabaze
  • Feb 22, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
Kampala

Bya Angel Lubowa ne Ahmed Mukiibi

YIINO endagaano  kkampuni ya  bbaasi eya Pioneer Easy Bus gy’erina  n’ekitongole kya KCCA .

Endagaano eno eraga nti aba bbaasi  bajjanga kusasuza abasaabaze ssente ezitasukka 500/- ku lugendo olutasussa kiromita 10ate  ne  siringi 1000 ku lugendo olususa kiromita 10 .

Kino kitegeeza nti okuva e Kampala okutuuka e Bweyogerere, oba okuva e Kampala okutuuka e Kasubi, Natete, Busega,  bbaasi yaakusasuzanga 500/- zokka ate e Seeta,  Mukono , Kyengera, Bulenga  basasule 1,000/-.

Abakungu okuli Yinginiya wa KCCA  Edward Mukalazi, Godfrey Wandera owa Minisitule y’ebyentambula,  Fred Ssenoga akulira kkampuni ya bbaasi, David Bayingana naye owa bbaasi ne bannaabwe abalala basatu Nyandaza Rumbidzayi, Emmanuel Walwasa ne Easter. K.Tayebwa be baagitaddeko emikono  mu April , 2010.

Ebiri mu ndagaano gye baakola ne KCCA

1 Kkampuni ya Pioneer  ejja kuleeta bbaasi 522 ezigenda okukola  ku Western zooni; (Kibuye -Ndeeba -Nateete, Kyengera  Bulunga, Nakulabye, Kasubi, Nansana ) ne Eastern zooni (Nakawa, Kireka, Bweyogerere, Bukoto Ntinda, Bugoloobi, Mutungo, ne Luzira).  Eastern Zone yaakukolako bbaasi 305. Ate Western bbaasi  217

2 Aba bbaasi bateekwa okusasuza abantu ebisale ebigwanidde ng’olugendo olusooka olutasussa kiromita 10 omusaabaze asasula 500/- zokka ate olusussaamu ateekeddwa kuwa 1000/-

3 Buli bbaasi eteekwa okusasula KCCA emitwalo 30 buli mwezi okukolera mu Kampala.

4 Kkampuni ya bbaasi terina kulemsa takisi naddala ebbali mu byalo kubanga zirina okutuusa abantu mu bifo omunaabeera bbaasi n’okubongerayo gye zitatuuka. Bwekityo aba bbaasi tebalina kusasuza ba takisi olw’emirimu gyabwe okuleka obubaggyako ssente z’okuddukanya ebifo (Terminal) bbaasi we zisimba bwe babeera nabo babikozesezzaako.

5 Kkampuni ya bbaasi yabaliriddwa okukozesa wakiri abakozi 3,000 abateekeddwa okuweebwa emirimu olw’obusobozi bwabwe so si mwana waani.

6 Aba kkampuni ya bbaasi bateekwa okuzimba siteegi  okussaako obuyumba abantu mwe bazirindira  kisikirize abantu okuzirinnya.

7 KCCA kiteekwa okumanya kalonda yenna agenda mu maaso mu kkampuni ya bbaasi.

8 Kkampuni ya bbaasi yali eteekeddwa okutandika okukola oluvannyuma lw’emyezi ena gyokka ng’endagaano eteekeddwako emikono waakiri ne bbaasi 100 ate oluvannyuma lw’emyezi mwenda zonna zireetebwe.

9 KCCA eteekeddwa okwetegereza endagaano eno oluvannyuma lw’omwaka erabe ebintu bwe bitambudde n’oluvannyuma bw’ebeera ematiza ebongezeeyo.

10 KCCA eteekwa okusasuza aba bbaasi ebifo we bagenda okusimba mmotoka zaabwe. Mu mbeera ng’ebifo ebimu omubadde musimbibwa mmotoka ne zisasula Multiplex biweereddwa bbaasi, ziteekwa okusasula ssente zennyini ezandivuddemu.

11 Bbaasi ziteekwa okutuuza abantu waakiri 60 buli emu.

12 Tewali wa bbaasi akkirizibwa kumala gongeza bisale era minisitule y’ebyentambula eteekwa okuteekawo amateeka n’obukwakkulizo okulungamya aba bbaasi.

12 Kontulakiti eno ejja kumala omwaka gumu n’oluvannyuma wabeewo okugyekenneenya era singa kinaazuulibwa nti aba pioneer bamatizza omulimu , bajja kwongerwa emyaka emirala etaano. Singa  kinaazuulibwa nti omulimu gubalemye, kontulakitia ng’esazibwamu.

  • Feb 22, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola