breaking news
Ono ye kampala
Ab’e Katwe boogedde ebizibu byabwe
  • Feb 22, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
clip
Abamu ku bakozi nga basima oluguudo oluyita mu katale k’e Katwe okuyisaamu payipu za kazambi nga kati enfuufu eggweera mu byamaguzi by’abasuubuzi.

Kampala

Bya Henry Ssennyondo           

EBIMU ku bizibu ebisuza abatuuze mu muluka gwa Katwe I nga bakukunadde nga lumonde, mwe muli emifulejje egimaze ebbanga nga tegigogolwa ne kazambi akulukutira mu myala n’amayumba gaabwe.

Ebizibu ebirala ebibanyiga mulimu ebisaaniiko n’ekkubo eriyita mu katale kaabwe eryasimiddwa nga bayisaamu payipu za kazambi ne lyonooneka, ekireetedde n’emmotoka ezireeta ebirime okugwamu n’ebyamaguzi byabwe okufuumuukirwako enfuufu.

Omuluka gwa Katwe I Parish gwe bayita ekibuga ky’abaddugavu eky’e Katwe ekyogerwako ng’omusibuka abayiiya oba abaweesi abalina obwongo obwesera.

EMYALA:

Abatuuze abali mu Zooni ezisoba mu 10 ezisangibwa mu muluka guno ogwa Katwe I, balina ekizibu ky’emifulejje egimaze ebbanga nga gy’alagajjalirwa, tegigogolwa nga gimezeeko n’ebikande.

Ogumu ku myala oguyita mu Kasule Zooni etwala n’akatale ka Kabaka, gwe gumu ku gimaze ebbanga nga tegugogolwa nga buli enkuba lw’etonnya mukoka ayanjaalira mu mayumba g’abatuuze.

Guyitira wansi w’oluguudo lwa Queens Way oludda e Kibuye nga guva mu Ttaawo Zooni ne guyingira mu Kasule Zooni ne gusalamu enguudo z’omu kibuga ky’e Katwe wakati ne guyiwa ku guva mu Buliggwanga.

Gwajjula ettaka erikuluggusibwa mukoka olwo n’abatuuze abamu ne bongerezaako nga basuulamu ebiveera, n’obucupa ekyongedde okussa obulamu bw’abatuuze b’omu kitundu mu matigga.

Enkuba buli lw’etonnya, mukoka ayanjaalira mu mayumba ne mu luguudo lw’e Katwe olwo  ab’ebidduka nga pikipiki, obugaali n’emmotoka nga tebakyasobola kusala.

Omuwandiisi ku LC I mu Nawanku Zooni, Mw. Michael Kazibwe yategeezezza nti ekizibu ky’emyala obutagikola, kyaggwaawo kati obuzibu buli ku kugigogola n’okugiddaabiriza obutazibikira n’asaba abakwatibwako kino bakisseeko essira.

KASASIRO:

Akulira akatale ka Kabaka ak’e Katwe, Mw. Levis Ssenkungu agamba nti ebisaaniiko bino kye kimu ku bizibu bye balina mu kitundu kino.

“Ffe ng’ab’akatale tusanze ekizibu ky’ebisaaniiko nga kinene kubanga abatuuze abali mu Zooni ezituliraanye babisomba ne babiyiwa abasuubuzi we bassa ebyabwe ne twetikka emigugu egitali gyaffe nga tetuyambiddwaako kitongole kya KCCA,”Ssenkungu bw’annyonnyola.

Agattako nti kino kyatuuka okubassisaawo omukuumi ku nsonga y’akasasiro nga bamusasula buli mwezi olw’okuziyiza abatuuze abasomba ebisawo bya kasasiro okumuyiwawo.

Ssenkungu ayongerako nti baatuuka n’okwagala okussa olukomera ku katale kano nga bakolagana n’ab’e Mengo kyokka entegeka eno babadde tebannagissa mu nkola. Tusaba ab’ekitongole kya KCCA bayambeko mu kufunira abatuuze ebifo ebiwerako mwe balina okukung’aanyiza kasasiro we banaamusanga okumuyoola.

Yagambye nti KCCA ekoma ku kuyoola kasasiro assibwa wakati mu mabanga agali mu luguudo lw’e Katwe munda tetuukayo. Omuluka gwa Katwe, gulina ekifo kimu kye bayita “Garbage Bank” ekisangibwa mu kikko ku Queens Way ng’odda e Kibuye kyokka abamu kasasiro tebamutuusaayo. Ebiveera babisuula mu makubo naddala mu budde obw’ekiro.

KAABUYONJO:
Kaabuyonjo ezimu abatuuze baziteeka mu mifulejje ne zikulukuta naddala mu biseera eby’enkuba ng’etonnye ate mukokoka n’ayanjaalira mu mayumba g’abantu, ekintu ekiyinza okuleetawo endwadde nga kkolera n’endala.

Ssentebe wa LC I mu Muwonge Zooni eyasalibwa ku Nawanku, Hajati Aisha Kyakuwa yagambye nti kaabuyonjo kibadde tekikyali kizibu nnyo kubanga ekitongole ekyali ekya KCC, mu pulogulaamu yaakyo eya (KIEMP) baali bagenze bazimba kaabuyonjo z’olukale.

Hajati Kyakuwa yategeezezza nti ekizibu kino kya bannannyini mayumba okuleka kazambi n’akulukutira mu myala.

“Mpa abapangisa amagezi nti nga tonnasasula ssente buuza landiroodi kaabuyonjo z’amayumba ge azikulage. Ne bw’oba osula ku mayumba ne zijjula ne mumugambako n’atabaako kyabakolera, mumuwaabire ku LC oba mu KCCA kubanga kino kikwata ku bulamu bwammwe. Muve mu by’okuliisa ebijanjaalo empiso, mujja kufa endwadde z’obujama,”  bw’agattako.

  • Feb 22, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola