breaking news
Ono ye kampala
Ab’e Katwe balangidde ababadde babalemesa okufuna ettaka
  • Feb 22, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
clip


Kampala

Bya Henry Ssennyondo           

ABAWEESI ne bamakanika abeegattira mu “Katwe Metal Fabricators Cluster” baalangidde abanene be bagamba nti bali mu gavumenti ababadde baagala okubatwako ettaka lyabwe eryabaguliddwa.

Baagambye nti ettaka lyabwe lino okulifuna bayise mu mannyo ga mpisi olw’abanene ababadde bakukuta n’akabiina ka “KASSIDA” balibatwaleko.

Ettaka lino, gavumenti yalibagulidde bave mu kanyigo k’ekibuga ky’abaddugavu e Katwe we babadde bakolera okumala ebbanga badde awagazi bongere okugaziya obwongo nga bayiiya n’okukola ebintu ebyenjawulo ebigasa eggwanga.

Minisita w’ebyobusuubuzi, amakolero n’obwegassi, Amelia Kyambadde ettaka lino yalikwasizza abaweesi ne bamakanika mu butongole ku mukolo ogwabaddewo Olwomukaaga ku luguudo lw’e Salaama.

Ssentebe wa “Katwe Metal Fabricators Cluster” Omulangira Juma Kayima yagambye nti,
“Bano banyazi bennyini ababadde baagala okusubya abaweesi, bamakanika, ababazzi, abookya wolodingi omugaati gwabwe”.

Yagasseeko nti olutalo lw’okufunira Bannakatwe ettaka yalutandika mu 2005 nga munnamagye Gen. Salim Saleh abakyalidde, ne boolesa ebintu ebyenjawulo bye bakola mu kisaawe ky’omu katale k’e Katwe ne bamwanjulira ebizibu bye balina nga baagala okusisinkana Pulezidenti Museveni.

Yeebazizza Gen. Salim Saleh, Moses Byaruhanga, ababaka ba gavumenti, Edward Ssekabanja, Lt. Kayondo Mulowooza, Sarah Nkonge Muwonge, Hussein Kyeyune Lukyamuzi n’abalala abaabayambyeko okutuuka ku kigendererwa kyabwe kye baali bayita ekirooto.


Amelia Kyambadde, minisita w’ebyobusuubuzi, amakolero n’obwegassi nga yeetegereza ekyuma  ekisa obuwunga n’ebinyeebwa mu mwoleso gwe baatadde ku kifo kyabwe ekipya ekyabakwasiddwa ku lw’e Salaama ku Lwomukaaga.

Buli alina omulimu gw’akolera mu kibuga ky’abaddugavu e Katwe agenda kuvaayo azzibwe ku ttaka lino eryaguliddwa gavumenti ku lw’e Salaama. Liri ku Block 262 nga liriko poloti: 411, 412, 580, 581 ne 582. Lisangibwa mu Nakinyuguzi Zooni e Luwafu.

Minisita Amelia Kyambadde yasabye bammemba b’ekibiina kya Katwe Metal Fabricators Cluster, obutasoomooza bannaabwe ababadde babalwanyisa n’agamba nti bajja kufuna omutima omubi ng’ate ekigendererwa kya gavumenti kugatta bantu.

“Temubasoomooza kufuna mitima mibi, twagala mube kimu ate nabo nnabasisinkanye ne mbawooyawooya nga tuteekateeka nabo okubalowoozaako mu mwaka gw’ebyensimbi oguddako” Kyambadde bwe yategeezezza.

Yasabye abaweesi ne bamakanika okusigala ng’ettaka eryo balikolerako ebyo ebisaanidde sso si kussaamu midaala gya nnyaanya, matooke n’obuduuka bwa cakalacala.

Yasuubiza nti minisitule ejja kusigala ng’ebayambako mu nzirukanya y’ekifo kino n’okubafunira ebikozesebwa eby’omulembe ate n’okulaba ng’omutindo gw’ebintu bye bafulumya bivuganya mu katale k’ensi yonna.

Poloti z’ettaka lino, zigenda kussibwa mw’emu lifunirwe ekyapa kimu lifune ne liizi ya myaka 49. Baasaze keeki, ente ne bafumba ne piraawo ne balya nga kwe batadde n’okusala endongo nga beekulisa ebizibu bye bayiseemu okukwasibwa ettaka lino.        

  • Feb 22, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola