breaking news
Bukedde Ku Ssande
Yiga okusiika obundaazi weegobeko obwavu
  • Feb 22, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
Kampala

Bya Olive Lwanga

ABANTU bangi bekwasa nti ekibalemesa okubaako bizinensi ze bakola butaba na kapito. Abamu balowooloza mu kutandika na bukadde bwa ssente. Waliwo emirimu nga tegyetaaga kapito mungi okugitandika nga eya Ben Soniwa ow’e Banda  asiika obundaazi obwakazibwako ‘dadi’.

Agamba nti, olina okusooka n’opima amazzi g’ogenda okugoyesa eng’ano. Bw’oba waakugoya pakiti z’eng’ano bbiri opima ebikopo by’amazzi bisatu n’ekitundu naddala singa eng’ano gy’ogoya eba egonda, ate bw’eba ekaluba okozesa ebikopo bitaano.

Teekamu ekikopo ky’enniimu kimu ng’ogigoyera mu ng’ano. Muno okamula enniimu bbiri ennene oba emicungwa ate bwe ziba ntono zirina kuba nnya. Enniimu eno nnungi kuba ereeta akawoowo mu bundaazi.

  • Amagi galina kuba asatu (3) n’ekikopo ky’amata kimu.
  • Teekamu ekitundu kya pakiti y’ekizimbulukusa .
  • Kozesa ekitundu kya kkiro ya ssukaali  n’akagiiko k’omunnyo kamu.
  • Goya eng’ano okutuusa ng’eyidde (nga tekyakukwatira ku ngalo), tandika okukanda ku kameeza ng’akola capati naye giwe omubiri gw’oyagala okukolerako obundaazi.
  • Kozesa akambe osaleesale obutundutundu olwo oteeke mu kkalaayi mu butto amaze okwsera. Mini za butto ssatu zikumala .
  • Tabulamu buleme kusiriira era bwe bumyuka ng’olwo buyidde ng’obuggya mu butto. Weewale okubusiba nga bukyayokya kuba buyinza okuyuza akaveera ne buyiika.

Soniwa ng’asiika obundaazi. Mu katono ng’akanda eng’ano okusalaasala obundaazi.

Ebyetaagisa okukola obundaazi

  • Ekikopo ky’amata, ekitundu kya kkiro ya ssukaali, akagiiko k’omunnyo, ekikopo ky’enniimu enkamule, mini za butto ssatu, amagi asatu, eng’aano pakiti bbiri, amanda  agamala okusiika.
  • Mu pakiti bbiri ez’engano osobola okufunamu ebbaafu nnamba ey’obundaazi.
  • Era kuno osobola okufunako amagoba ga 5,000/- oba 7,000/- singa buba buzimbye bulungi.
  • Osobola okupakira mu buveera okusinziira ku  bbeeyi gy’oyagala okutunda.
  • Bangi batandikira ku bwa 100/- n’okweyongerayo.
  • Feb 22, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola