breaking news
Bukedde Ku Ssande
‘Abagaya emirimu gy’emikono mbasekerera’ Ekyalaani kye kisomesezza abaana
  • Feb 22, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
Kampala

Bya DICKSON KULUMBA

ABANTU bangi banyooma emirimu gy’emikono n’okugiyita egy’abataasoma kyokka nga mwe muli ssente ezisobola okubayimirizaawo ‘okwekulaakulanya.

Mumbejja Annet Nakabiri, atunga ekyalaani e Kazo mu Ggombolola y’e Nabweru si bwe kiri era bintu abiraba bulala okusinziira ku by’afunye mu kusamba ekyalaani nga b’annyonnyola:

Okutunga mulimu ogwetaaga omuntu alowooza ennyo kuba gwa bwongo, mulimu okupima.
Nasikirizibwa abakyala be nayitangako nga batunga ku mbalaza nange ne mmalirra okukiyiga olwo nga mbeera Namasuba.Wabula bwe nnafumbirwa ate eby’okutunga ne mbivaako, kyokka oluvannyuma nagula ekyalaani ne nkipangisa.

Omusajja Kalunah sirimwerabira kuba ye yanjigiriza ekyalaani era yansomesa okutunga gomesi n’ankuutira obutakigayaalirira kuba kyandiba nga ly’ekkubo ery’okuntuusa ku birungi.

          Mumbejja ng'atunga ekyalaani

Emisono emirala omuli: egy’ebitengi, empale z’abaana b’amasomero n’emisono gy’abakyala egy’enjawulo, nabyeyigiriza nzekka ku mulimu.

Mu 1996 baze yanfaako, ekyampaliriza okuggya ku gwe nnali mpangisizza ekyalani kyange ne ntandika okunoonya ssente mu kutunga era kinkoledde.

Bye nfunye mu kutunga:

  • Nsobodde okuweerera abaana bange kuba kitaabwe yabaleka bato ddala. Omukulu Roy Nantege kati musawo ku Kawempe Health Centre, Derrick Walusimbi ali ku yunivasite e Makerere, Timothy Ssengendo agenze mu S.4 ne Jovia Nakimuli agenze mu P7.
  • Nsobodde okulabirira amaka wamu nange okwebeezaawo kuba ntawaanyizibwa ekirwadde kya ssukaali.Nnina bodaboda bbiri ezimpa ssente eza buli lunaku nga buli emu ereeta 10,000/-.
  • Nagula poloti ne nzimba era kati sipangisa.
  • Nnina ebyalaani bisatu: eky’amasannyalaze  ekinnyamba amagulu bwe gaba gakooye nga sisobola kusamba.

Bye njize mu mulimu guno:

1. Kasitoma yeetaaga okukwata obulungi.
2. Buli akolagana naawe ku mulimu olina okumuwa ekitiibwa.
3. Okuba ow’amazima.

Omuze gw’okutambuza bakasitoma byewale, bw’akugamba nti olugoye ndwagala bwe luti nga tojja kukisobola mubuulire mukkaanye ate otuukirize ky’omugambye.

Olunaku bwe mba nnaze nga sirina kirala kyakukola, nsobola okutunga gomesi nnya. Buno bwe bayita obukugu oba obumanyirivu nti buli kimu olina kukikola ku bwangu.

 

                                                                                                                    Mumbejja ng'alaga ennyumba gy'azimbye

Ekyalaani kino kifuna mu sizoni ya December mpozzi n’abaana nga badda ku masomero.

Okusoomoozebwa

1. Abantu abamu bw’obakolera ne batasasulirawo okukusasula lufuuka lutalo  n’abamu ne bakukyayira ddala.
2. Oluusi emirimu bwe gisukka naddala mu nnaku enkulu teweebaka kuba olina okutuukiriza obweyamo ekiyinza kuba eky’obulabe ku bulabe.
3. Ekyalaani kirumya ekifuba ate olina okweriikiriza okusobola okuba omulamu kuba kikamula.
4. Bakasitoma abamu baleeta engoye ne batazinona n’okuuma ezimu ne zonooneka ate bwe bazinona nga baagala kuzikusasuza.

Amagezi

Abantu bonna naddala abakyala mbasaba baveemu omuze gw’okulinda buli kimu
okuva ew’omusajja, kubamu akafaananyi singa baze yafa nga sirina kye nsobola kukola, twandibaddewo tutya?
Kale kyetaaga okuba ne ky’osobola okukola n’oggyamu ejjamba,nga tonyoomye mulimu gwonna.

  • Feb 22, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola