Kampala
ABANTU bangi batwala obudde bungi nga beetegekera omukwano, okugulowoozaako, n’okugwogerako ate abalala baguteekamu obutitimbe bw’ensimbi okusobola okuwa omutima gwabwe kye gwetaaga.
Wabula omuntu okunyumirwa omukwano olina okugwetekeratekera sso si kumala gagwira munno kuba ebikula by’abantu byawukana.
Bw’oba onoonya munno laba nti buli kitundu ky’omubiri gwo okikozesa okutuuka ku buli kitundu ky’omubiri gwe okusobola okufuna ky’oyagala ne ky’omusuubiramu.
Sooka olowooze ku mukwano gwammwe n’engeri gy’oyagalamu munno. Bw’oba omwagalira ddala ebirowoozo bino bijja kukoleeza obusimu bw’omukwano ekinaabaleetera obwagazi.
Kozesa amaaso omwetegereze omubiri gwonna nga bw’omupimaapima okuva ku mutwe okutuuka ku bigere.
Ng’okozesa amaaso go okusikiriza munno, siima obudde bwe yatutte nga yeekolako ng’omuwaana kuba abakazi banyumirwa nnyo abaagalwa baabwe nga babawaana, kibateeka mu muudu.
Weetegereze engeri gy’asiizeemu enjala, emimwa, amaaso, engeri gyasaniriddemu enviiri era omuwunyeko omanye akawoowo ke yeekubye.
Nga tonnamwambula weetegereze ebitundu bya munno ebyomubiri, ebiri ebweru nga emikono, amagulu, amatu, obulago, engalo n’ebirala. Bino osobola okubiweeweetako oba okubinywegera.
Abaagalana nga beeyambula mu kisenge.
Okugeza oyinza okuyisa ettama lyo ku lirye oba ebigere byo ku bibye , okumunywegera ku nnyindo, amaaso mu matu nga bw’omusonseka obugambo obuwooma.
Tandika munno okumuggyako engoye , nga buli w’oggya olugoye, otwala obudde okunywegerawo. Okugeza, omukyala munno bw’omuggyamu essaati, munywegere mu bulago, ekifuba, amabeere n’ebifo ebirala, era naye bw’akuggyamu bbulawuzi oba ekiteeteeyi akole bwatyo.
Bwe mumala okuggyako engoye z’oku ngulu musobola okugalamirako ku buliri nga muli mu bugoye bw’omunda bwokka nga bwe mwenywegera.
Mutuule oba munno mulere ng’omwambula akaleega n’akawale, bw’omala munywegere akaleega we kayita, osembyeyo amabeere. Essira singa kulissa ku nnywanto. Ziweeweete ng’amabeere bw’oganyigiriza ku kifuba, ajja kwongera okucamuka.
Mu kiseera kino, mukwate omunywereze mu kifubakyo nga bw’okumunywegera mu bulago n’okumuyimbira mu matu nga bw’omuweeweeta.
Mugalamize mpolampola ku buliri olwo omunywegere ng’ova ku bigere okudda waggulu. W’onootuukira mu kiwato ajja kuba yaweddeyo dda.