Kampala
OMWENGE kye kimu ku bintu abaagalana bye beeyambisa okufuna muudu ebayamba nga bammeggana mu bigwo by’ekikulu.
Omukugu mu ndwadde z’abakyala, Dr. Dennis Kinene ow’omu Kampala agamba nti omwenge ssi ddagala eryongera amaanyi g’omukwano, kyokka nti gulimu ekirungo ekiyitibwa ‘Ethanol’ ekitamiiza nga kiyitira mu musaayi okutuuka mu bwongo.
‘Omuntu bw’atamiira, awulira essanyu, aggwaamu ensonyi acamuka wamu n’okufuna amaanyi g’atafuna nga tanyweddeemu. Omuntu ow’ekika kino atandika okulaba nga byonna byangu era bisoboka.
Bw’atuuka mu mbeera eno, n’obwagazi bw’okwegatta bweyongera n’awulira ng’alina amaanyi ag’enjawulo”, Kinene bw’annyonnyola.
Agattako nti wabula omwenge gwe gumu naddala bwe guyitirira ginafuya omuntu n’atuuka mu mbeera y’obutasobola kubaako kye yeekolera, era bw’atuuka mu buliri atandikirawo kufuluuta okukeesa obudde.
N’olwensonga eno, Kinene agamba nti si kya magezi kukozesa mwenge ng’ekimu ku bintu ebikussa mu muudu y’omukwano, kuba kino bw’okyemanyiiza otuuka ekiseera eby’omukwano ne bikulemerera.
Wabula omwenge omusaamusaamu gutambuza ebintu bya laavu.
Abaagalana nga bali e Busaabala gye buvuddeko.