
Abel Dhaira ne Ali Kimera, abakwasi ba ggoolo ya Cranes mu kutendekebwa gye buvuddeko.
Bya Williams David Kibanga ne Hasfah Ssonko
February 29 mu za Afrika:
Congo Brazaville - Uganda
OMUTENDESI wa Cranes, Bobby Williamson asattira olw’emiziziko egyekiise mu kkubo lye mu kaseera nga yeetaaga buwanguzi ku Congo Brazaville gye bakyalira wiiki ejja.
Cranes erwana kuyitamu kuzannya mu za Afrika eza 2013 e South Afrika kyokka bassita baayo, Isaac Isinde ne Mike Sserumaga tekimanyiddwa oba nga banaagyegattako.
Kigambibwa nti St. George (Ethiopia) gye bazannyira yabagaanidde olw’emipiira gy’erina ate nga gye gisalawo oba ng’eneesitukira mu liigi.
Kino kitadde Bobby mu awazibu mu kaseera nga David Obua ne Ibrahim Sekaggya abatera okuzannya mu bifo ebyo, tebakyali ku ttiimu.
Ebya Mutumba biwanvuye: Martin Mutumba Kayongo abadde asuubirwa okuyamba mu kuyiiyiza Cranes, eby’okugizannyira biwanvuye olw’okuba nti tannafuna paasipooti ya Uganda, ekitegeeza nti takkirizibwa kuzannya.
Kino kitiisizza Bobby kuba abadde amusuubira okuziba eddibu lya Obua.
Okuwummula kwa Sekaggya: Ng’oggyeeko eky’okuba empagiruwaga mu kisenge kya Cranes, Sekaggya abadde mukulembeze mulungi ku kisaawe ate ng’asobola okuzannya ennamba eziwera.
Kino kirese abali ku kakiiko ky’ebyekikugu nga beebuuza oba Andy Mwesigwa (eyamusikidde) anaakola Sekaggya by’abadde akola.
Omutindo gwa Cranes ku bugenyi: Omwaka oguwedde Cranes lwe yamenye likodi bwe yawangudde omupiira gwayo ogusooka ku bugenyi mu myaka 11 egiyise. Yawangula Guinea Bissau omwayo (1-0).
Ku luno eri ku kigezo okugenda mu maaso ne likodi eno oba okuyiwayo Bannayuganda.
Cranes esuubirwa okutandika okutendekebwa ku Lwomukaaga n’abazannyi 22 okunaava 18 abaasitiula ne ttiimu okugenda e Congo.