breaking news
Ebyemizannyo
Nsimbe ali ku kigezo
  • Feb 22, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |

Bya Hussein Bukenya ne Hamid Kalanzi

Enkya mu liigi:

URA - Fire Masters

GEORGE ‘Best’ Nsimbe eyaakalya obutendesi bwa Fire Masters, ali ku kigezo enkya okumatiza bakama be nti omulimu waakugukola bulungi.

Enkya Fire Masters ekyalira URA FC omupiira Nsimbe gw’asoose okuba mu mitambo gyayo oluvannyuma lw’okugobwa kwa Leo Adraa, abadde agitendeka.

Nsimbe, eyakola erinnya mu KCC FC gye yabulako akatono okutuusa mu bibinja bya CAF Champions League, yasuddewo Victors gy’abadde atendeka olw’okufuna obutakkaanya ne bakama be.

Nnannyini Fire Masters, Peter Johnson agamba nti, “Nsimbe mutendesi mulungi era nsuubira nti ttiimu yange agenda gugiggya mu kaseerezi k’erimu.”

Fire Masters ya 13 ku bubonero 19 nga singa terinnyisa mutindo gwayo, yandisalwako.

Nsimbe, eyatandise emirimu gye ku Lwokubiri, yatadde omukono ku ndagaano ya mwaka gumu.

 

 

  • Feb 22, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola