
Bbanda ng’ali ne mukazi we n’abaana be yasseaabwe
Bya Luke Kagiri ne Deborah Nanfuka
SSAALONGO Bbanda agambibwa okutta abaana be n'okutemako Nnaalongo emikono yakwatiddwa poliisi y'e Mityana eggulo.
Poliisi emukutte agenze mu maka ga kitaawe e Ggulwe mu ggombolola y'e Maanyi mu disitulikiti y'e Mityana okumusaba ekkooti olw'empewo eyasuze emufuuwa era abatuuze abaasuze bamuyigga bwe bamulabye ne bakubira poliisi n'emutaayiza.
Yabadde n'ekiso era bwe yalabye bamutaayizza nga talina w'addukira n'akyesogga mu bulago kyokka ne kitamutta era n'akwatibwa ne bamuggalira mu kaduukulu k'e Mityana gye yaggyiddwa okutwalibwa mu ddwaaliro e Mityana okujjanjabwa ekiwundu kye yafunye ku bulago.
Eby'okwerinda byanywezeddwa nnyo nga Bbanda atwalibwa ku ddwaaliro oluvannyuma lw'abantu okugezaako okutwalira amateeka mu ngalo batte Bbanda.
Bbanda ng'atuusiddwa ku poliisi yagitegeezezza nti ebyabaddewo yabikoze lwa busungu oluvannyuma lw'okulagira Nnaalongo atwale abalongo ewa kitaabwe omutuufu, kyokka omukyala ne yeerema. Yagasseeko nti n'omwenge gwe yanywedde ekiro ekyakeesezza Olwokusatu ky'ekimu ku byamukozesezza obutemu buno.
Yannyonnyodde nti yabadde tagenderedde kutta mwana waakusatu (Kigongo) kubanga ye amwekakasa nti wuwe, wabula olw'obusungu obungi obwabadde bumulinnye mu kiseera ekyo nti bw'amulemesezza okwawula Kigongo ku balongo ababiri Babirye ne Nakato okukkakkana nga ne Kigongo amutwaliddemu.
Omuduumizi wa poliisi mu Mityana Alfred Bagambaki yategeezezza nti bagenda kutwala Bbanda mu ddwaaliro akeberebwe okukakasa oba talina kikyamu ku bwongo era bwe kizuulwa nti yakoze obutemu buno ng'ategeera bulungi, avunaanibwe ogw'obutemu.
NNAALONGO ATTOTTODDE EBYABADDEWO:
Nnaalongo Nabateregga attottoledde Bukedde ebyabaddewo bw'ati: Ssaalongo okukomawo yansanze nneebase ku kitanda ky'abaana nga nnyonsa mwana n'ansaba ejjambiya nti ateme enku ze tunaakozesa enkeera.
Omwana omukulu eyabadde yaterese ejjambiya yagiggyeeyo n'agireeta n'agimuwa. Amangu ago yatandise okumbuuza eby'abalongo b'ateebereza nti si babe, era wakati mu kwecwacwana nagenze okulaba ng'atandise okutema abaana.
Naluwagga Kigongo ne Nalukwago Babirye baafiiriddewo era mu kugezaako okulwanirira abaana bange, yatandise okuntema emikono n'embiriizi ne ngwa mu kitaba ky'omusaayi era ssazzeemu kutegeera. Kirabika yalowoozezza nti ffenna atusse wabula nze n'omulongo omu Justine Nakato ne tusimattuka.
Nnaalongo agamba nti okuva bba okuva lwe yatandika okunywa omwenge taddangamu kufuna mirembe kubanga buli lw'anywa akomawo n'amutuntuza n'abaana awaka n'abamalako emirembe ekyaviirako ne mutabani waabwe omukulu Joseph Ssemuddu 15, okudduka awaka.
Yagasseeko nti omwezi oguwedde waliwo olunaku bba lwe yakomawo ne bafuna oluyombo era n'akoona ku ky'abalongo nti si babe; wabula Nnaalongo ensonga n'azitwala mu bakadde abazaala omukyala era Bbanda n'ayitibwa ne bazituulamu; Ssaalongo ne yeetonda nti yabyogezza ttamiiro.
Wadde Nnaalongo agenda atereera kyokka Nakato yatabuse ku ssaawa 8:00 ez'ekiro ekyakeesezza Olwokuna olw'amajambiya agaamutemeddwa mu mbiriizi ku ludda lw'omutima n'ekisago ky'oku mutwe.
Nnaalongo asaba abazirakisa okumuyamba kubanga n'ebikozesebwa mu ddwaaliro ebitandikirwako tabirina, bakube ku ssimu 0787988055.