breaking news
Amawulire
Besigye asabye ababaka balwanirire obwenkanya
  • Feb 22, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
clip
Besigye ng’ayogera eri abatuuze b’oku Kaleerwe

Bya Henry Kasomoko, Moses Lemisa ne Joseph Mutebi

AMASASI ne tiiyaggaasi byakubiddwa mu lukung’ana lwa Dr. Kiiza Besigye ku Kaleerwe okugumbulula abawagizi be abaabadde bakasukira abapoliisi amayinja.

Bino byabadde ku kisaawe e Mulago, Besigye gye yabadde akubye olukung’aana olugezaako okulwanyisa embeera embi gy’agamba eri mu ggwanga.

Besigye yategeezezza nti ensonga lwaki bakalambidde ku nkola eno, ayagala Gavumenti eteekewo ekitebe kimu ekyetengeredde nga kino kijja kuyamba abantu bonna okufuna obwenkanya mu ggwanga lyabwe.

Yasabye ababaka ba palamenti okuva mu kulwanirira okuboongeza omusaala wabula badde mu kulwanirira enkola ennung’amu esobozesa buli muntu mu ggwanga okugabana ekyenkanyi ku mulimu gwe.

 

 

  • Feb 22, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola