breaking news
Amawulire
Omukazi bamutuze ava ku mulimu e Makindye ekiro
  • Feb 22, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
clip
Poliisi ng’etwala Nakayiza.

Bya H. Ssenyondo

CAROLINE Nakayiza Kyomuhendo abeng’anda ze baakomye okumulabako ku makya g’Olwokubiri, baagenze okuddamu okumulabako olunaku lw’eggulo ku makya nga mufu.

Kiteeberezebwa nti Caroline (nga bw’abadde asinga okuyitibwa) yatugiddwa abantu abatannaba kutegeerekeka bwe yabadde ava okukola ku Lwokubiri akawungeezi.

Omulambo gwa Caroline gusangiddwa wansi w’omuti omunene mu kikko ng’oyisizza takisi z’e Luwafu we zikyukira ku makya g’eggulo Olwokusatu.

Gubadde mu mpale enzirugavu gye yagenderamu okukola ng’ate ku mabbali waliwo empitambi.

Tegusangiddwa na lubale lwonna yadde ekiwundu ekitono ku mubiri kye kirowoozesezza nti yandiba nga yatugiddwa butugwa.

Ebisumuluzo by’ennyumba ye, asangiddwa nabyo nga biri mu kaleega we yabadde abitadde.

Omulambo we gusangiddwa, ziri mmita nga 50 zokka okuva ku ssomero lya Luwafu Junior School okumpi n’ensalo ya Nakinyuguzi Zooni e Luwafu ne Boston Zooni esangibwa mu Salaama Parish.

Gubadde gwesudde fuuti nga 30 okuva ku kkubo. Muganda we, Allen Tumuhiirwe ategeezezza nti “nnakomye okulaba ku Caroline ku ssaawa nga 3:30 ez’oku makya g’Olwokubiri. Ekiro kyonna twasuze twebuuza gy’ali kubanga bulijjo tatera kusula mu kyalo.

Ku makya nkedde kufuna ssimu nga bantegeeza nti muganda wange bamuttidde okumpi n’essomero lya Luwafu Junior era omulambo guli awo”.

Bba, David Ssebuliba aludde ng’ayawukanye naye yagambye nti naye amawulire ga ‘maama w’abaana’ be agategeeredde ku ssimu gye bamukubidde ku makya ng’ateekateeka kutwala mutabani waabwe Joachim Nsereko e Gombe SS.

Ssebuliba ategeezezza nti mukaziwe Caroline, yamuzaalamu abaana basatu; Anorld Ssevume omukulu eyatudde S.6, Joachim Nsereko eyatuulidde e Namiryango, eyabadde atwalibwa e Gombe SS ne Sadrak Nviiri naye eyatudde S.4.

Ssentebe wa LC I mu Nakinyuguzi Zooni e Luwafu omwagudde ekikangabwa kino, Hajji Magidu Sserunjogi yategeezezza nti okufa kwa Caroline talina muntu yenna gw’ayinza kukuteekako, kiyinzika okubanga yabadde n’olumbe oluludde nga lumufenkanya mpola olwamukutulidde mu kifo ekyo ng’adda ewuwe.

Akulira bambega ku poliisi e Katwe, (ASP) Ronald Boogere agamba nti ekyamusse bajja kukizuula nga bamaze okufuna lipoota y’omusawo wa Gavumenti e Mulago omulambo gye gutwaliddwa okwekebejjebwa ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

Boogedde ku Caroline

ALLEN Tumuhiirwe: Caroline muganda wange era tubadde tusula ku nju ze zimu. Nnakomye okumulabako Olwokubiri ku ssaawa nga 3:00 ez’oku makya ate nzizeemu okufuna essimu nga bangamba nti mugandawo attiddwa era n’omulambo guli kumpi n’essomero lya Luwafu Junior.

DAVID Ssebuliba; bba wa Caroline: Bankubidde essimu nti maama w’abaana bano bamusanze bamusse. Y’azaala abaana bange abakulu kyokka ebiseera bino tubadde twayawukanamu ne nsigala nga muwa obuyambi obwetaagisa era tetubadde na buzibu bwonna.

HAJJI Magidu Sserunjogi; ssentebe wa LC I e Nakinyuguzi: Omulambo tegulina kisago kyonna wadde enkwaguulo, ndowooza nti ayinza okuba nga yabadde n’olumbe oluludde nga lumuluma olwamusse.

 

 

  • Feb 22, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola