breaking news
Amawulire
Meeya wa Mukono atadde obukwakkulizo ku bbaasi
  • Feb 22, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
clip
Meeya Muyanja Ssennyonga

Bya Henry Nsubuga

MEEYA w’e Mukono, Johnson Muyanja Ssenyonga ataddewo obukwakkulizo bw’agamba nti bulina okumala okutuukirizibwa entambula ya bbaasi eryoke ekkirizibwe okugenda mu maaso mu kitundu kye.

1. Meeya agamba nti babadde n’omutemwa gw’ensimbi ze babadde baggya ku takisi kyokka nga bbaasi bwe zinaatandika okukola olwo bajja kuba balina okukendeeza ku nsimbi zino n’olw’ekyo nga KCCA erina okuvaayo ebeeko omutemwa gw’ensimbi gw’eteekawo gwe balina okuwa ebibuga nga Mukono, Kira, ne Wakiso bbaasi zino gye zigenda okukolera.

2. Meeya agamba nti KCCA n’aba Pioneer bbaasi balina okutuula nabo okulaga ssente mmeka bbaasi ze zigenda okusolooza ku bantu. Meeya agamba nti singa kino tekikolebwa mu ntandikwa kijja kuwa aba bbaasi ebbeetu okusolooza ssente bbo ze baagala nga bakyayinza okutandika nga basaba 1,000/- okugenda e Mukono ate bwe wanaayita ebbanga ate bongeze batuuke ne ku 3,000/- ng’aba takisi bwe babadde bakola.

3. Ssenyonga agamba nti etteeka lya bbaasi teriraga ngassi Meeya wa Mukono atadde obukwakkulizo ku bbaasi Aba Kayongo beekozeemu akabinja Kkooti ebakkirizza okubuuliriza ku baminisita ntuufu omuntu anaagwanga mu nsobi ng’atambulira mu bbaasi ssente mmeka z’anaawanga ezisembayo obungi kuba etteeka ligamba nti omuntu oyo alina okuwa ssente ezitakka wansi wa mitwalo 4. Abantu abanaakwatibwa etteeka lino kuliko abatamiivu nga ye Meeya agamba nti akageri ssente zino gye zitalambikiddwa bulungi olwo omuntu anaabanga amenye amateeka ajja kuba asalibwawo mulamuzi ku nsimbi ye z’aba ayagala nga kyangu okusasuza omuntu ssente ezituuka ne mu kakadde.

4. Meeya era ayagala KCCA ekikole nga bwe kibadde ku takisi ng’omuntu omu asobola okugula takisi ye n’agisindikira aba UTODA n’ekola nga ne ku bbaasi bw’ayagala kibeere ng’omuntu ssekinnoomu asobola okugula bbaasi n’agiweereza mu KCCA n’ekola.

Ku ky’abantu abagamba nti Meeya ne bakulembeze banne okuvaayo mu kiseera kino baliko ebyabwe bye beenoonyeza agamba nti ssi kituufu nti kino kye bakola bagezaako kulwanirira bantu baabulijjo ng’abakulembeze baabwe. Agamba nti ensonga zaabwe zirimu amakulu so ssi za byabufuzi ng’abamu bwe bagamba nti ye nsonga lwaki ne Palamenti yabawulirizza.

‘Tetwagala alemesa bbaasi’

Teddy Kizza; musuubuzi e Mukono: Abakulembeze bano tebandirinze bbaasi kumala kutuuka ne balyoka batandika okwesonsa ku bintu eby’enjawulo. Ekyo bandibadde baakikola dda ffe kati tulaba nga bbo abeenoonyeza ebyabwe.

Patricia Namukasa; musuubuzi: Ebyo Meeya by’agamba nti ate KCCA ebeeko ssente z’ebasasula bireme kulemesa bbaasi kukola bateese mpola nga bwe zikola kasita naffe batusasuza layisinsi bagira bakozesa ezo ssente ze tusasula. Okulemesa bbaasi kijja kutulowoozesa nti banoonya kyoja mumiro.

Ismail Ssebaggala w’e Nassuuti Mukono: Tukooye takisi tetwetaaga kuwulira muntu yenna agezaako okulemesa takisi okutandika okukola kuba aba atuyisa bubi. Abatakisi batutulugunyizza ebbanga ddene ky’ekiseera tubawummulemu.

Godfrey Baine mutunze e Mukono: Ssaawukanangako na Meeya Ssenyonga naye ku luno njawukanye naye, eky’okuyimiriza bbaasi ezimaze n’okutuuka siyinza kukikkiriza. Bbaasi zijje zitusaabaze ku nsimbi ezitakyukakyuka nga takisi bwe ziri mu kiseera kino nga buli kadde bongeza ssente era ne bakendeeza nga bwe baagala.

Doreen Nayiga w’e Nabuti: Batuwonye takisi kuba zongeza ssente nga bwe zaagala. Ku makya e Kampala ogendera 2,000/-, okudda olw’eggulo basaba 3,500/- embeera eyo etukooyezza. Ffe ng’abagenda okukozesa bbaasi bwe batuzza mu by’okutumanyisa endagaano za bbaasi ate mbu Pioneer y’ani ffe ebyo biba byakutufiiriza.

Charles Musisi: Ensonga za bbaasi batuyambe baziggyemu ebyobufuzi kuba ffe tukimanyi zijja kuyamba muntu waabulijjo ate bbo babiteekamu enkola ya nfunira wa nga bbo abantu ekitagenda kutukola bulungi n’akamu.

 

 

 

  • Feb 22, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola