breaking news
Amawulire
Aba Kayongo beekozeemu akabinja
  • Feb 22, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |

Bya Hannington Nkalubo

ABAVUBUKA mu katale ka St. Balikuddembe abawagira ssentebe Godfrey Kayongo Nkajja beekozeemu ekibinja ekigenda okusiiba n’okusula nga bakuuma akatale obutaddamu kukkiriza muntu kwekalakaasizaamu ne balemesebwa emirimu.

Baazinze ofiisi ya Kayongo ku Lwokubiri ne bamutegeeza nga eby’okubakomako okukuuma akatale kaabwe bwe bikomye.

“Abantu abaavudde ebweru w’akatale batulemesa batya okusuubula nti beekalakaasa ate baagana n’okusasula ssente za liizi y’ettaka, toddamu okutukomako okubang’anga tusobole okukuuma emmaali yaffe,” Moses Sserugo eyakulembedde banna nga 30 bwe yategeezezza Kayongo.

Kayongo yabaanukudde nti tagaana muntu kukuuma mmaali ye n’akatale mwakolera nti kyokka bateekwa kukikola nga bakolaganye na poliisi okunyweza obutebenkevu.

Kyokka munne John Baptist Kivumbi eky’abavubuka okukola ebibinja nti bikuuma katale teyabisembedde ddala.

 

 

  • Feb 22, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola