Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Kawoomera
Abooluganda batting’ana lwa musajja
Kampala | Apr 01, 2012
Omukwano ogw’ababiri gunyuma naye bwe guyingiramu owookusatu...
  • Share
  • mail
  • img

Kiva ku ki omuwala gw’omanyi nga mukwano gwo enfiira bulago oba mugandawo ate okukwefuulira n’ayagala muganziwo oba balo?

Bino bye biri mu firimu The Dream Man ezannyibwa Aba Aitisy Film Production. Omuwandiisi era omutendesi wa firimu eno Stanely Nyanzi yatuukiriddwa Ronald Mubiru n’ayogera kwe yasinziira okuwandiika firimu eno:

LWAKI WAGITUUMYE THE DREAM MAN?
Nagitumye bwentyo kubanga abawala bangi beegomba okusanga abasajja ab’ebirooto byabwe mu bulamu ate nga ne mu Firimu tulaba omuwala Denys ng’afunye omusajja gwe yaloota nga Jemein. Firimu eno erimu abooluganda babiri abakaayanira omusajja omu Denys olw’obuggya omu apangira muganzi we Jemein{The dream man} abasajja ne bamukuba ng’amuteebereza okuganza mutoowe.

ERIMU ABAZANNYI BAMEKA?
Erimu abazanyi 12 era be nsobola okusasula kubanga mulimu n’abaamannya abamanyiddwa ate bo beetaaga ssente nnyingi.

ETUTTE BBANGA KI NGA MUGIKWATA?
Twagitandika mu 2011 mu October tugimaze mu 2012 mu February.

BIZIBU KI BY’OSANZE MU FIRIMU?
Ssente tetubadde nazo, baproducer batono ate ne basereebu be tuteeka mu firimu batusaba ssente nnyingi.

LWAKI MUBATEEKAMU?
Bagiwa amaanyi n’obukugu n’etunda.

WAAKAWANDIIKA FIRIMU MMEKA?
Ziri ssatu esooka bagiyita The Secret, Nze ggwe n’eno The dream Man.

LWAKI OLOWOOZA NTI ABANTU BANAAGYAGALA?
Kubanga ebitundu ebigirimu biwoomu ate tulinamu abazannyi abaamannya nga Leila Kalanzi, CeaserMan n’abalala. Ng’oggyeeko ekyo mulimu ebiwala ebinyirira.

MU FIRIMU ENO TULABAMU OBUTEMU BUVA KU KI?
Okugattika omukwano, obuggya n’ebirala.

Denys ne mutoowe  bavuganya ku musajja omu.

Jemein ng’asitudde Denys oluvannyuma lw’abazadde ba Denys okubakiriza okwagalana.

Abamu ku bazannyi ba firimu The Dream Man

blog comments powered by Disqus
MICHO: ‘Nzize kutuusa Cranes mu nsi ensuubize’ . Olowooza Micho anaatuusa Cranes mu nsi ensuub
Ye
Nedda
Simanyi
facebook
Twitter
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Developed by: