Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Amawulire
Eyakomyewo ekiro mukazi we amutemye
Amawulire | Apr 27, 2012
Kabagambe ng’alaga omukono ogwatemeddwa.
  • print
  • mail
  • img

Bya Prossy Kalule

YASOOSE kulaalika bba nti singa kamutanda n’asussa essaawa 4.00  nga tannadda waka, tatawaana okumukonkona era asulirayo ddala.

Wilson Kabagambe nga musuubuzi mu katale ka Owino yasoose kulowooza nti bya kubalaata  wabula kyamubuuseeko  mukazi we Rose Basemera  bwe yakutte ejjambiya  n’amutema emikono n’amagulu ng’amulanga okuddanga awaka ekiro.

Kabagambe agamba nti Basemera yasoose  kumukubira ssimu ng’amulaalika nga bw’atajja   kumuggulira ng’ava mu bakazi abalala.

‘Olwatuuse awaka ne nkonkona omukazi eyasoose okwesisiggiriza okuggulawo kyokka bwe nnalemeddeko  kwe kuggulawo. Ejjambiya yabadde agikwese mabega wa luggi era olwabadde okuyingira ennyumba n’antema emikono n’amagulu,’’ Kabagambe eyasangiddwa ku kitanda  mu ddwaaliro e Mulago gy’ajjanjabirwa  bwe yategeezezza.

Kabagambe agamba nti bino byabaddewo   ku ssaawa 6:00 ez’ekiro e Nankulabye bwe yafunye obutakkaanya ng’omukazi agamba nti ayitirizza okutambula ekiro n’obwenzi.

Basemera yaggulawo omusango ku poliisi y’e Bukesa ku fayiro nnamba SD: 02/24/4/12.
 

blog comments powered by Disqus
NoImage
Olowooza ekibonerezo ekyaweereddwa yaaya okusibwa emyaka 4 kyamugwanidde?
Ye
Nedda
Simanyi
facebook
Twitter
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Noimg Developed by: logo