Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Amawulire
Ani yalidde? Bobi Wine ne Bebe Cool boogedde
Kampala, Lugogo | May 06, 2012
  • Share
  • mail
  • img

Bya JOSEPHAT SSEGUYA ne MARTIN NDIJJO

BAATANDISE na kuyiting'ana mannya omu n'ayita munne Kadingo omulala n'ayita munne Kataala.

Lino ly'ebbugumu eryakulembedde olukontana wakati w'abayimbi Bobi Wine ne Bebe Cool olwagweredde mu kivvulu ekyajjumbiddwa ennyo ne kibooga e Lugogo ku Lwokutaano ne kuddako ekirala e Ntebe.

Bobi ne Bebe  baamazeeko ebivvulu byabwe nga buli omu agamba nti ye yawangudde ensiitaano eno eyatuumiddwa 'Battle of the Champions.'

Mu Bukedde ku Ssande twakulaze ani yaliddewo munne mu biti eby'enjawulo kyokka kati tukuleetera abayimbi bennyini nga boogera lwaki buli omu alowooza nti ye yawangudde;

BOBI WINE;
Bobi Wine yeerangiridde ku siteegi e Lugogo nga zisusse mu ssaawa 9 ez’ekiro nga Bebe agenze era ng'alina n'omusipi ng'oguwangulwa mu bikonde oba ebigwo.

Kino kyaddiridde Bobi Wine okulemera ku  siteegi nga poliisi ebalagidde balekere awo kyokka ye Bebe n'akkiriza  n'avaako. Bwe twamubuuzizza eggulo gw'alowooza eyawangudde ensiitaano Bobi yawadde ensonga lwaki ye yasinze;

  1. Bebe Cool akanzindaalo kaamuzitooweredde n'agamba n'abawagizi be nti 'Tukkirize nti Bobi Wine atuwangudde.' Era abawagizi be baanyiize ne bakasuka n'obutebe.
  2. Bw'aba mujaasi yadduse mu ddwaaniro era mu Ghetto Republic kati bankunzizza  okuva ku General kati nze Field Marshall, eyasigadde mu ddwaniro. 
  3. Nnayimbye layivu okuva ku ntandikwa okutuusa ekivvulu okuggwa nga ye ayimbira ku butambi bwa CD ne bwe yatandise okuyimba layivu nnabadde namukeesezza dda endongo kubanga ye yabadde anyeenya bunyeenya mimwa.
  4. Obwedda yeekweka n'ava ku siteegi kyokka nga nze ntuula ku siteegi sivaako.
  5. Ennyimba ze zaaweddeyo n'adduka ku siteegi nga nze ntandika butandisi. Yeegayiridde ne poliisi etugaane okuyimba nti obudde bugenze ng'alaba mutta. 
  6. Abawagizi bange baabadde bangi okusinga ababe.

 

BEBE COOL ENSONGA Z'AWA;

  1. Oyo Bobi Wine nnabagamba dda nti si muyimbi nga muwakana naye ekirungi abantu abaabadde e Lugogo kino baakikakasizza kubanga obudde obusinga yabumaze mu kwogera na kunvuma.
  2. Ng'omuntu aludde mu nsiike y'okuyimba, abawagizi nnabawadde kye baagala kuno kwe nagasse n'okukuuma empisa y'ensonga lwaki nawulirizza poliisi ng'etugambye okuva ku siteegi.
  3. Mu bivvulu mubeeramu abantu abanyumirwa CD kubanga eby'ekika kino bye bisinga okutegekebwa y'ensonga lwaki bano nabalowoozezzaako era kwe natandikidde, mu layivu bbandi wano mu Uganda nvuganya na ba Afrigo bandi era kino abaabaddeyo baakikakasizza.
  4. Ku siteegi omuyimbi otuyanana nnyo kale okwewala okuwunyirira abantu obwedda buli lwe nninya ku siteegi nga nkyusa wamu n'okwesiimulaako ne ttawulo.
  5. Nnalazeeko kye nkoze okuyamba abantu bwe nnaleese ku siteegi abaana b'e Katalemwa be nnyamba.

OLUTALO LWA YINTANENTI
Olutalo luno tebaalukomezza Lugogo ne Ntebe wabula baalututte ne ku mukutu gwa yintanenti abantu mwe bakuganyizza ebirowoozo ku nsonga ez'enjawulo ogwa Facebook buli omu nga yeewaana nga bw'asinze munne Bebe n'atuuka okugamba nti yasinze Bobi era yabadde ng'afuuyira ebiyenje ne biyiika ku ttaka. Yataddeko n'akatambi ka vidiyo akalaga nti abantu bang'odde Bobi Wine ku siteegi okukakasa kino.

Bobi yamuzzeemu nti yawangudde Bebe n'adduka ng'atuntumuka omuliro gw'ennyimba gwe yamuyiyeeko n'awunga era kati ayinza okuba zolo.

Gwe omusomi wa Bukedde Yintaneti engule ogiwa ani?

blog comments powered by Disqus
MICHO: ‘Nzize kutuusa Cranes mu nsi ensuubize’ . Olowooza Micho anaatuusa Cranes mu nsi ensuub
Ye
Nedda
Simanyi
facebook
Twitter
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Developed by: