Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Ebirooto
Okuloota ng’ofudde kitegeeza ki?
Ebirooto | May 16, 2012
  • Share
  • mail
  • img

Nakaggwa e Bweya yaloose mwannyina gwaddako ng’amuweese ku pikipiki ng’agivuga kapaalo nga ne gye bagenda tategeerayo. Baabadde bagenda ne basanga Omuyindi n’abayimiriza n’asaba mwanyina ebintu bye yali amuteresezza. Kikujjukiza okusasula ebbanja lye walya ly’oludde okusasula era nga bw’oba tosobola kulisasula mulundi gumu waakiri genda ng’olisasula mu bitundutundu.

          *******************

E.N e Nakisunga yaloose ng’alaba entuumu z’evvu ezaabadde zituumiddwa mu luggya lwabwe. Kitegeeza nga bwe waliwo omuntu ow’ettima ateeseteese okubakolako obulabe nga tasosodde mukulu oba omuto.

       ******************

Hasfa e Namirembe yaloose ng’ayambadde omukuufu ogw’ebbeeyi mu bulago bwe. Kitegeeza okubeera mu bulamu obulungi obweyagaza wamu n’emirembe mu ddya oba mu mukwano gw’olimu kati.

          ****************

Ben e Kisugu yaloose ng’alaba muganzi we ng’ayambadde akakookolo ng’abuzaabuza abantu baleme kumutegeera. Kitegeeza nga bw’olina omuntu omukyamu gw’okolagana naye era nga kikuyigiriza obuteemalaamu nnyo mu bigambo by’omukwano ogukyali omupya.

        *****************

Mukasa e Ssembabule yaloose ng’amulisa enswa. Kitegeeza nga bwe waliwo omu ku baganda bo oba mikwano gyo anaatera okuva ku mulimu gw’abadde akola adde ku mulala mu bbanga eritali ly’e wala.
 *********************

Musoke e Kazo yaloose ng’ali n’abasajja b’atamanyi ng’abatema n’okusomba ebisiki mu kibira. Kiranga nga bwe wanaatera okugwawo emiteeru naye okusingira ddala nga muyinza okufiirwa mu baganda bo oba ku kyalo.

         *******************

Esther e Ziroobwe yaloose ng’aguddemu ekidumusi. Kitegeeza okwonooneka kw’ebimu ku bintu eby’omuwendo by’olina okuggyako ng’oyongedde amaanyi mu ndabirira yaabwe.

         *********************

Musisi e Seeta yaloose ng’asaabadde mu nnyonyi n’abantu abalala nga bava Ntebe nga badda Dubai kusuubula. Kiranga omukisa gw’okufuna ekintu ekirungi ky’obadde tosuubira wabula ng’ojja kukirabira awo. Bw’otookifune ng’omanya ky’omu ku baganda bo oba mikwano gyo.

          **********************

Mustafa e Ndejje yaloose ng’afudde kyokka yagenze okusisimuka ng’alaba mulamu. Kitegeeza kubeera bulungi nga tolina kikutaataaganya.

          ********************

Namusisi e Kalagala yaloose ng’alaba ekibinja ky’abajaasi abaabadde beenyigidde mu mulimu gwa bulungi bwa nsi mu kabuga k’ewaabwe.

Kitegeeza nkyukakyuka mu byabufuzi. Naye ng’enkyukakyuka ezo ziyinza okubeera ez’emirembe.
Namuswe e Kannyogoga yaloose ng’ekire ky’enkuba eky’amaanyi ennyo kitonnya kyokka olwabadde okukya ate omusana ogw’amaanyi ennyo ne gwaka. Kitegeeza okufuna amawulire ag’essanyu eri omu ku b’olulyo lwo gw’omaze ebbanga eddene nga tomuwuliza.

          ********************

Edith akyali muwala muto naye yaloose nga yeetisse ekisero omwabadde ebibala eby’engeri ezitali  zimu ng’akitwala ewa ssentebe w’ekyalo kyaffe. Kitegeeza nga bw’olifumbirwa omusajja omusanyufu ate nga muyimbi bw’oliba ng’okuze.

                ******************

Fred e Kitiko yaloose ng’atambulira ku lubalama lw’ekiyanjayanja ekyabadde kijjudde kitengejja. Kitegeeza nti ebyobugagga by’ogujubanira okufuna mu bwangu bw’otojja kubisobola era nga kiyinza okukuzibuwalira okufuna so nga ne bwonooba obifunye togenda kubiwangaaliramu.

       ********************

Kajubi e Sentema yaloose ng’akungula omuwemba ogwabadde mu ssamba eddene ennyo naye nga talina amuyambako. Kiranga okuddirira mu byenfuna mu bantu b’omu kitundu mw’oli oba mu ggwanga lyonna okutwalira awamu.

         *****************

John e Lutengo alina emyaka 70 yaloose ng’azze buto ng’alinga omuvubuka ow’emyaka 20. Kitegeeza nga bw’oyolekedde enkyukakyuaka ezitali za mirembe  mu bulamu bwo.

           *****************

Semuju e Mpigi yaloose nga yeerongoosa ekiwundu ekyabadde ku ntumbwe ye. Bw’obeera omulimi oba omusuubuzi oba omulunzi kitegeeza nga bw’ogenda okufuna amagoba mu bintu by’okola.

            ***************

Z.K e Kikandwa yaloose ng’agoba ensega ku muti oguli mu nnimiro ye. Kitegeeza nga bw’oyolekedde olutalo n’abalabe bo abaludde nga bakulondoola okusaanyaawo obulamu bwo. Yongera okwegendereza n’okwekuuma abantu b’oyita mikwano gyo so nga babeera balabe bo.

          *****************

Ono yaloose ng’azaalisa omukazi abadde aludde nga atazaala. Kitegeeza omu ku bantu b’olubu lwo ali mu bizibu ebimutuuse mu bulago.

blog comments powered by Disqus
Katikkiro Mayiga yanditandikidde ku ki mu kisanja kye nga Katikkiro?
1. Okubanja Ebyaffe
2. Okuzzaawo amasiro n’okutumbula ebifo eby’obuwangwa
3. Kuteekawo pulojekiti z’ebyenkulakulana mu bavubuka ba Buganda
facebook
Twitter
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Developed by: