Bya Martin Ndijjo
MWANAMUWALA Shanita Namuyimbwa amanyiddwa nga Bad black yeeyongedde okubeera mu kattu ng’atuuse n’okufiirwa emu ku mmotoka ze ez’ebbeeyi lwa bbanja lya bukadde 80.
Omulamuzi Geofrey Kiryabwire amulabudde okutegeeregana mu bwangu n’omusuubuzi w’omu Kampala amubanja obukadde 80 bwalemererwa waakugenda mu maaso awe ensala ye okusinziira ku bujulizi bw’alina.
Yadde nga Black akyalina emisango mu kkooti ewoozesa abakenuzi, ku Lwokuna yabadde alina okulabikako mu kkooti y’ebyobusuubuzi okubaako ne by’annnyonnyola mu musango ogwamuwawaabirwa omusuubuzi Ismail Bumba Mpanga agambibwa nti yamuwoola ssente n’okutuusa kati Black z’akyalemeddwa okusasula yadde ng’ebbanga lye bakkaanyaako lyayitako.
Kigambibwa nti omwaka oguwedde mu mwezi gwa October, Black yeewola ku Mpanga ssente n’amusuubiza okuzisasula mu bbanga lya mwezi gumu era yamusingira mmotoka ye ey’ekika kya BMW X6 nnamba UAP 304D kyokka olw’okuba nti mu budde obwo teyalina kaadi ya mmotoka eno yasalawo okumulekera eya mmotoka ye endala ey’ekika kya Range Rover nnamba UAP 8383L nga kaadi y’eno yaali yakumuddizibwa ng’aleese eya BMW ekitaakolebwa.

Mmotoka ya Black gye yaweerayo kaadi.
Kino kyawaliriza Mpanga okwekubira enduulu mu kkooti kyokka balooya ba Black ne basaba omulamuzi Kiryabwire ensonga bazimalire ebweru naye kye yakkirizza n’abawa wiiki bbiri wabula ebbanga lino we lyagwereddeko nga tebannaba kutegeeregana. Yadde nga looya wa Mpanga ayitibwa Paul Kuteesa aliko empapula ze yaleese mu kkooti eziranga nti bakkaanyiza era Black yakkiriza okusasula ssente zino nga yazitaddeko n’omukono gwe, bino Julius Galisonga looya wa
Black yabiwakanyizza n’ategeezezza nti omuntu we (Black) yamutegeezezza nti baamuwaliriza okuteeka omukono ku mpapula zino nga teyabadde na looya we kumulung’amya ku nsonga eno kale byonna ebyabaddemu babiwakanya.
Ensonga eno omulamuzi yagiwuuliriza era Galisonga n’asaba omulamuzi abaweeyo omukisa gumu Black ne Mpanga basisinkane bakkaanye kubanga ababiri bano bakwatagana era boogera.
Yadde Mpanga asaba obukadde 80 bbo balooya ba Black, bagamba omuntu waabwe alina okusasula obukadde 50 okusinziira ku ssente ze yeewoola kyokka nga zino tebazoogera.
Olw’embeera y’ebyenfuna Black gy’alimu mu kiseera kino, okusobola okusasula ssente zino mu bwangu ayolekedde kutunda emu ku mmotoka ze zino kyokka ebyembi eya BMW gye buvuddeko yakwatibwa ab’ekitongole ky’ebyemisolo era eri ku ofiisi zaabwe.