Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Mityana/mubende
‘Gavt. etuwe ssente twekulaakulanye’
Mityana | May 28, 2012
Abamu ku bakyala nga bali mu musomo gw’okukola ssabbuuni e Myanzi.
  • Share
  • mail
  • img

Bya Luke Kagiri

Abakyala mu b’e Mubende balaajanidde Gavumenti awamu n’abakulembeze ba Disitulikiti eno babateekerewo omutemwa gw’ensimbi ogw’okwekulaakulanya mu mbalirira y’ebyensimbi ey’omwaka ogujja, bazikozese okweggya mu bwavu. 

Abakulembeze b’abakyala abaayogeddeko ne Bukedde baategeezezza nti enkola za Gavumenti nnyingi zijja naye tebasobola kuziganyulwamu kubanga ziba zaakuvuganya na basajja. 

Kwe kutegeeza nti mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja baagala bafune omutemwa ogwabwe gwe basobola okukozesa mu pulojekiti ezinaabayamba. 

Mu pulojekiti ze baagala mwe muli okukola ssabbuuni, eddagala ly’omusaayi awamu n’okulunda embuzi n’embizzi. 

Abakyala bano bagamba nti batandise okufuna emisomo mu bintu ebyenjawulo ng’okukola ssabbuuni nga kati balaba nga bwe baba bakoze basobola okumufunamu nga bamutunze oba okukozesa awaka ne bafissa ku nsimbi ezibadde zimugula. 

Omu ku bakulira ebyobulimi mu Disitulikiti y’e Mubende, Dan Ssettaala yagambye nti ebyobulunzi biyinza okuyamba ennyo abakyala naddala okulunda embizzi singa baba bayambiddwa.

blog comments powered by Disqus
Katikkiro Mayiga yanditandikidde ku ki mu kisanja kye nga Katikkiro?
1. Okubanja Ebyaffe
2. Okuzzaawo amasiro n’okutumbula ebifo eby’obuwangwa
3. Kuteekawo pulojekiti z’ebyenkulakulana mu bavubuka ba Buganda
facebook
Twitter
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Developed by: