Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Amawulire
Ani ku bano anaawangula empaka za Miss Uganda 2012?
Kampala | May 29, 2012
Abamu ku beesimbyewo ku mpaka za Miss Uganda 2012
  • print
  • mail
  • img

ya Martin Ndijjo

KU Lwokutano luno (June 1, 2012) lwe balonda nnalulungi wa Uganda (Miss Uganda 2012) anaddira Sylvia Namutebi mu bigere ku mukolo ogugenda okubeera ku Serena Hotel mu Kampala.

Abawala 22 be bavuganya ku ngule eno nga bano baalondebwa gye buvuddeko okuva mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu n’oluvannyuma ne bakung’aanira ku Ndeere Center e Ntinda gye bamaze kati wiiki satu (3) nga batendekebwa n’okubangulwa mu bintu ebyenjawulo.

Ku lwokutano lwa wiiki ewedde abawala bano baabadde mu bbaala ya Guvnor nga buli omu ayolesa ekitone kye mu kiro ekyatuumiddwa (Talent Show). Anaawangula Miss Uganda omwaka guno bagenda kumuwa mmotoka ne poloti y’ettaka ate annamuddirira (ow’okubiri) agenda kufuna poloti ya ttaka.

Gwe omusomi wa Bukedde Yintaneti, ku bano wammanga ani gwe wandiwadde engule y'obwa Miss Uganda 2012?

Suzan Namirimu 21, asoma ddiguli ya Quantitative Economics mu mwaka ogwokubir. Yeennyumiriza nnyo mu Dr. Esther Achan era amukkiririzaamu.

Effe Nalumansi 21 asoma diguli ya Economics and Management. Omuntu gwe yeegomba okufaanana ye nnyina kuba amuzzaamu nnyo amaanyi. Anyumirwa okusoma ebitabo, okutambula, okunyumya n'okuwuliriza ennyimba.

 

Priscilla Atulinde 19, ali mu luwummula lwa S.6. Yeegomba nnyo okufaana Tyra Banks.

 

Eva Nabawanga 23, asoma diguli mu Mass Communication. Yettanira okwolesa emisono okuyimba n'okuwuliriza ennyimba era yeenyumiriza mu Tyra Banks.

 

Monica Namukwaya 23, asoma ddiguli ya Procurement and Logistics Management. Akola mulimu Procurement manager. Yeegomba okufaanako Hon. Rebecca Kadaga

 

Racheal Kelly Kirabo 21, asoma dipulooma ya Mass Communication ku UMUCAT. Ayagala nnyo okwolesa emisono, okukola emikwano n'okutambula. Yeenyumiza mu Ivian Sarcos.

 

Tracy Gorret Tambula 21 asoma ddiguli mu Social Work and Administration. Anyumirwa okuyimba, okulaba ffirimu, okuwuliriza Radio n'okuzannya ensero.

Monica Rukundo 23, asoma diguli mu bya International Business ku MUBS e Nakawa. Ayagala nnyo okutambula, okulaba ffirmu, n'okuwuga. Yeegomba okubeera nga Dr. Maggie Kigozi

 

Sheila Nuweatwine 22, akolera mu kitongole kya KCCA nga kalabaalaba mu kuziba ebinnya n'okuddaabiriza enguudo mu Kampala Division. Yettanira okuyimba n'okutambula era yeegomba nnyo Omubulirizi w'enjiri Joyce Meyer

 

Josephine Nabakooza 21, asoma diguli e Makerere

 

 Stella Namugere 20, ali mu luwummula lwa S.6, anyunirwa nnyo okwolesa emisono, okuwuga n'okuzina era yeenyumiriza mu Brenda Nannyonjo.

 

 Nancy Abila 24 , alina ddiguli mu bya Anthropology and Linguistics. Ayagala okukola emikwano emiggya n'okutambula. Yeegomba Nnaabagereka Sylvia Nagginda.

 

 Phiona Bizzu 19,  ali mu luwummula lwa S.6, anyinirwa nnyo okuwuliriza ennyimba, okusoma obutabo obwa litulicca w'Oluzungu. Yeegomba Oprah Winfrey

 

 Nina Agnes Mirembe 20 yatuula S.6 nga kati alindirira  kuyingira Yunivaasite. Ayagala nnyo okuyimba era yeegomba Nnaabagereka wa Buganda Sylvia Nagginda

 

 Agatha Tuhimbise 22 asoma ddiguli mu Arts. Annyumirwa nnyo okuwuga, okukola emikwano emiggya n'okuzina. Yeegomba Nelson Tugume era gw'atunuulira okuddamu amaanyi.

 

 Rachael Seera 21 asoma  ddiguli mu Public Administration. Anyumirwa okusoma litulicca, n'okukubaganya ebirowoozo n'abantu abalala. Yeenyumiriza mu Hon. Miria Matembe

 

 Evelyn Baluka 23, asoma ddiguli ya Leisure and Hospitality Management era anyunirwa nnyo okutambula n'okuvumbula ebipya. Yeenyumiriza mu Hon. Rebecca Kadaga

 

 Louise Nankabala 22, alina satifikeeti mu Cartering and Hotel Management. Ayagala nnyo okuwuga, okulinnya ensozi n'okusoma. Yeenyumiriza nnyo mu Mariam Ndagire

 

 Mariam Atulinda 23 asoma ddiguli mu Information Technology. Anyumirwa okuwuga n'okuzannya ensero era yeenyumiza nnyo mu nnyina.

 

 Sandra Ayaa 20 asoma ddiguli ya Business Administration e Makerere. Anyumirwa nnyo okuwuga, okwolesa emisono, okuzina, okwogereganya ne mikwano gye ku mukutu gwa yintaneti ogwa Facebook n'okukola emikwano

 

Sophie Betty Amayo 21, asoma dipulooma mu by'amawulire ( Journalism). Anyumirwa nnyo okutambula, okusoma, n'okuwuliriza ennyimba era yeenyumiriza mu Maggie Kigozi

Ebifaananyi byonna bya Martin Ndijjo

 

blog comments powered by Disqus
NoImage
Nnamungi w'omuntu atambulira ku beesimbyewo ku Bwapulezidenti ategeeza buwanguzi oba kukyamuukiriza
Ye
Nedda
Simanyi
facebook
Twitter
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Noimg Developed by: logo