Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Amawulire
Poliisi ezudde ekibinja ekibba abaana ne kibatunda
Jun 10, 2012
Semuju eyakwatiddwa n’omwana.
  • Share
  • mail
  • img

Bya KIZITO MUSOKE

POLIISI ekutte omusajja eyabbye omwana ow’emyaka esatu n’emwogeza ekibinja kya banne abalala 10 bwe bakola ogw’okubba abaana era n’alonkoma ababatuma okubabba ne babawa omudidi gw’ensimbi omuli abakungu n’abantu ab’amannya mu ggwanga.
   
Charles Semujju,23, yakwatiddwa ku Mmande, nga yeekukumye e Butambala n’omwana ow’emyaka esatu gwe yabbye e Gayaza mu Wakiso.
 
Alonkomye ekibinja ekibba abaana
Semujju yategeezezza poliisi nti okubba abaana mulimu gwe ogwamuyingizibwamu mukwano gwe asoma mu ttendekero erimu e Nakawa. “Mukwano gwange bwe yalaba nga sirina ssente, n’ang’amba nti bwe mba njagala okufuna ssente ng’abalala mu kibuga nti alina diiru efuna”, Semujju bw’agamba. 
   
Yayongeddeko nti okumukakasa nti diiru efuna, yasooka n’amuwaayo ku ssente emitwalo 10 alyeko. Agamba nti mukwano gwe yamutambuza  mu bitundu eby’enjawulo era nti ekibinja kyabwe ekibba abaana kya bantu 10 be bakolagana nabo mu bubbi buno. 
 
 “Mukama waffe ono, asoma y’abadde atuukirira omunene agula abaana bano, ffe ne batuleetera obubaka ne ssente. Bwe tuba tufunye atuwa omulimu, mukama waffe ono akola nga kayungirizi atuwa ku ssente, ne tutawankawanka nnyo.
   
OMWANA WA BUKADDE 10
 
Ssemujju eyasangiddwa ku poliisi y’e Kibibi ku Lwokusatu yategeezezza nti  omwana yabadde amubbye ku Yuda Lubega asangibwa e Gayaza mu Wakiso. 
   
Agamba nti balina Mukama waabwe akolera mu kitongole kya gavumenti ekimu (kisirikiddwa kuba poliisi ekyabuuliriza)  ng’ono abadde yabasuubiza okubawa obukadde bw’ensimbi 10, era nga baabadde bamukakasizza nti bw’atuusa omwana e Kisoro nga bamuweerawo ssente ze. 
 
“Omwana nabadde nnina okumutwala e Kisoro, kyokka ssente z’entambula ne zinzigwako, kwe kusalawo okusooka okumutwala mu kyalo, nga bwe nninda okumpeereza ssente mmwongereyo nga wayise wiiki emu.
 
Nabadde n’entegeka y’okutandika edduuka ly’obusimu mu Kampala mu ssente obukadde 10 bwe baabadde bagenda okunsasula”, bw’agamba.
   
Yategeezezza poliisi nti ono ye omwana  gwe yabadde asoose okubba, abalala abadde alaba balabe nga banne bababbye. Kyokka bo abatuuze b’e Kifampa gy’azaalwa abaamukutte  baategeezezza nti Semujju yabagambye nti aludde ng’abba abaana mu Kampala.
 
AYOGEDDE ABABAGULA 
 
 
Semujju agamba nti balina ekifo we bakung’aanyiza abaana be babbye e Kisoro, ng’eno emirundi mingi abaana  
ab’okutwala ebweru w’eggwanga  gye babakung’aanyiza. Abeera abbye omwana takwatagana butereevu na muguzi, wabula buno buvunaanyizibwa bwa kayungirizi.
 
We baamukwatidde, agamba nti waliwo munne eyabadde yaakabba omwana mu Kampala mu bitundu by’e Lubaga era nga ye yabadde amutuusizza e Kisoro.  
   
Ku babatuma okubba abaana ne babagula, Semujju yagambye nti, “Tulina omunene mu gavumenti gwe tukolagana naye ng’abaana abatusasulamu ssente nnyingi. Ekibinja kyaffe ekitugulako abaana kirimu n’abasuubuzi.
   
Abaana abamu babeera baakutunda wabweru wa ggwanga, abalala baguzibwa bakyala abatazaala, ate abalala tubawa abantu abaagala okusaddaaka”.  
 
Yagambye nti bwe babeera babba abaana tebaboola muwala na mulenzi kuba buli omu abeera n’omulimu gw’asobola okukola. Abaana abanyirira ennyo be batera okutunda mu bakazi abatazaala.
 
Engeri gye baamukutte
 
Ssentebe wa L.C 1, ku kyalo Kifampa gye baakwatidde Semuju ekisangibwa mu ggombolola y’e Bulo mu disitulikiti y’e Butambala, Moses Kasibante yategeezezza nti abooluganda lwa Semuju baamutuukiridde nga beemulugunya ku mwana gwe yabadde azze naye okuva e Kampala ow’emyaka esatu.
   
Kasibante agamba nti abooluganda baatidde olw’endabika y’omwana Semujju gwe yazze naye ku Lwokuna akawungeezi eyabadde addugala nga talina na ngoye.
 
Bwe baamubuuzizza ebikwata ku mwana yabategeezezza nga bw’ali owuwe nti naye amuggye ku mukazi gwe yamuzaalamu abadde tamulabirira bulungi.
 
Kyokka  bwe baabuuzizza omwana bw’ayita Semujju, yabazzeemu nti yamugambye amuyite taata, bwe baamubuuzizza oba y’amuzaalira ddala, omwana yazzeemu nti kitaawe mulala era gye baamuggye.  
   
Ssentebe ye yatemezza ku poliisi y’omu Bulo ku Mmande eyazze n’ekwata Semujju, era olwamukunyizza n’akkiriza nti ddala omwana yabadde amubbye Gayaza. Oluvannyuma yatwaliddwa ku poliisi y’e Kibibi.
   
Kasibante yategeezezza nti Semujju bamuzaala ku kyalo kino mu maka g’omugenzi Siperito Lulanyagwa, eyali omusajja Omulundi. 
 
Maama ayogera 
 
Ritah Nantongo, nnyina w’omwana eyabadde abbiddwa  yategeezezza nti omuvubuka ono abadde mugonvu. “Baze yaleeta omuvubuka ono tubeereko naye nga bwe bamunoonyeza enju mw’asula. Wano asuzeewo ennaku nnya, era abadde  muwulize nga ne bw’omutuma ekiro, teyeekaanya.
   
Abadde asiiba akutte ku ttama, era ng’antegeeza nga bw’ali omunaku ennyo. Ku lunaku Lwokuna ku ssaawa 11 ez’olweggulo, yantegeezezza nga bw’ayagala okugenda okugula ovakedo ku dduuka. Yakutte Norah ne batambula naye.
   
Oluvannyuma lw’eddakiika nga 20 nga ndaba tebakomawo, omutima gwatandise okunkuba era nakanze kunoonya muvubuka nga simulabako.
 
Obukodyo bwe bakozesa okubabba
 
Semuju agamba nti akakodyo ke basinga okwettanira kwefuula abanaku ennyo, era kino kyanguyiza abantu okubayamba era singa akutwala omukolere, olina okusooka okumulaga nti oli mukozi nnyo nga weetuma n’emirimu. Kino kitegeeza nti ajja kukuteekamu obwesige akulekere n’abaana. 
 
Mu kifo we babeera bakolera tebagezaako nnyo kukola mikwano ku kyalo bo basiiba waka na kubala miwaatwa mwe bayinza okuddukira n’abaana.
   
Yagambye nti omulimu gwabwe teguliimu kupapa ne bwe kiba kyetaagisa kulinda kumala myezi etaano, akisobola okutuusa lw’afuna omuwaatwa n’abba omwana.
 
Kayungirizi waabwe amanyi okubafunira emirimu mu bantu ng’ekigendererwa kya kubbayo baana.  “Tukozesa amannya agatali gaffe, era tetwogera waffe watuufu  okwewala okutunoonya nga tubuze n’abaana”. (Semujju abadde yeeyita Munyoro era nga ye Makoma, kyokka nga tamanyi wadde ebigambo by’Olunyoro ebiwera ekkumi.
 
Kitaawe w’omwana attottola
 
 Yuda Lubega omutuuze e Manyangwa e Gayaza mu disitulikiti y’e Wakiso, yategeezezza nti okuleeta Semuju mu maka ge  yamuggya ku poliisi e Kanyanya oluvannyuma lw’okumusanga nga talina w’asula. 
   
“Omuvubuka yantegeeza nti ye Charles Makoma era nga Munyoro, nti bazadde be baafa bonna ne baziikibwa mu limbo e Lusaze, kyokka nga baava Kisoro. 
 
Namufunira ebizimbe n’atandika okuweereza abazimbi era bantegeeza nti mukozi mulungi, buli gye namutwalanga.
   
Emirimu nga gyesibyemu, nafunye mukwano gwange alina essomero n’antegeeza nga bw’ayagala omukuumi. Olwokuba essomero lyabadde kumpi ne we mbeera nakkirizza okumusuzaako ennaku nga bwe tunoonya enju mw’anaabeera.
   
Olunaku lwe yabadde ow’okusemba okusula ewange lwe yasitudde omwana wange Norah Nalubega  (3) n’abulawo naye. 
   
Nagenze ku poliisi ye Kasangati ne mpaaba omusango gw’okubula kw’omwana wange era ne nzigulawo omusango ku fayiro SD/45/31/05/12”. 
 
 
 
blog comments powered by Disqus
Katikkiro Mayiga yanditandikidde ku ki mu kisanja kye nga Katikkiro?
1. Okubanja Ebyaffe
2. Okuzzaawo amasiro n’okutumbula ebifo eby’obuwangwa
3. Kuteekawo pulojekiti z’ebyenkulakulana mu bavubuka ba Buganda
facebook
Twitter
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Developed by: