Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Amawulire
Museveni agguddewo Mapeera House
Kampala | Jun 11, 2012
Ssaabasumba Lwanga ng’ayaniriza Museveni. Addiridde Pulezidenti ye Kalidinaali Wamala ate asooka ku kkono ye Ssaabasumba Odama. Ekif: Benjamin Ssebaggala
  • print
  • mail
  • img

Bya  Ahmed Mukiibi

PULEZIDENTI Museveni agguddewo Mapeera House, ekizimbe amatiribona ekya kalina19, ekiwemense ddoola obukadde 40, mu za Uganda obuwumbi 100.

Wakati mu ssanyu n’okukuba obuluulu, Pulezidenti yasaze akaguwa  ku ssaawa mwenda ez’olweggulo okuggulawo ekizimbe kino ekizimbiddwa kkampuni ya Roko mu ngeri ey’obukugu.

Ekizimbe kino nga kye kitebe ekikulu ekya Banka ya Centenary, kyabbuddwamu Faaza Lourdel Simeon Mon Pere ‘Mapeera’, Omuminsani eyaleeta eddiini ey’Obukatoliki mu Uganda mu 1879.

Kya myaliro 19 ng’esatu giri wansi mu ttaka era gya kusimbako mmotoka. Emyaliro ena egisooka ku ngulu giri  mu dizayini ey’eryato, akabonero akalaga eryato Fr. Mapeera  lye yasomokerako ku nnyanja Nnalubaale  ng’ava e Tanzania okutuuka e

Munyonyo mu Uganda olugendo olwamutwalira emyezi kkumi.
Emyaliro egiri mu dizayini y’eryato ze ofiisi za Banka ate emyaliro 12 egiyitamu waggulu gyakupangisibwa ebitongole, kkampuni n’abantu ba bulijjo.


Ekizimbe kya Mapeera Pulezidenti kye yagguddewo eggulo. Ekif: Enock Kakande

Omukugu mu by’okukuba pulaani z’ebizimbe, Henry Ssentoogo eyakulira Pulojeketi ya Mapeera House yategeezeza nti ekizimbe kino  kye kimu ku bizimbe ebisinga obugumu mu buvanjuba n’amasekkati ga Afrika. Omukolo ogw’okuggulawo ekizimbe kino gwakulembeddwamu Ssaabasumba ow’Esazza ly’e Gulu, John Bapist Odama mu kiti kye nga Ssentebe w’olukiiko lw’aba Episikoopi (olukiiko lw’abasumba  Abakatoliki).

Odama eyabadde anekedde mu Kasoko eyakakobe ng’asuuliddeko ekyambalo  ekya ‘Sapulisi’ yasabidde ekizimbe essaala eyatutte eddaakiika kkumi  nga Pulezidenti n’abasumba bayimiridde  mu kisinge ekinene  ku mwaaliro ogusooka.

Oluvannyuma Ssaabasumba Ondama,   Kalidinaali Wamala, Ssaabasumba wa Kampala, Cyprian Kizito Lwanga, n’abalala yamansidde amazzi ag’omukisa   mu kizimbe.

Pulezidenti yagambye nti  okuggulwawo kwa Mapeera House, ye ntobo enywevu  Centenary Bank gy’etaddewo mu kuzimba ‘ekibbo’  n’asaba aba Banka eno okumuyambako mu kukunga Bannayuganda abasoba mu bitundu 68 ku 100 abakolerera emmere ya leero bave ku  mbeera ey’okukolera omumwa batandikewo emirimu egivaamu ssente.

Minisita w’Ebyensimbi, Maria Kiwanuka yasuubizza nti gavumenti yakwongera okussaawo embeera esobozesa amakampuni n’ebitongole eby’obwannannyini  okukola bizinensi zaabwe nga bakola enguudo , amasannyalaze n’ebirala ebigenderako.

Ssentebe w’olukiiko olufuzi olwa Centenary Bank, Polof. John Ddumba Ssentamu  yategeezezza nti ssente obuwumbi 100 zonna  ze bazimbyemu ekizimbe za bakasitoma tekuli zaavudde bweru oba mu Vatican. Banka eno erina amatabi 54 ng’ekozesa abantu 1600. Yagambye nti ebyobugagga bya centenary Banka  kati biri mu buwumbi 1000 era omwaka 2011  baakoze amagoba ga  buwumbi 47, n’asuubiza okwongera okufaayo ku bakasitoma.

blog comments powered by Disqus
NoImage
Olowooza Uganda Cranes eneekuba Ghana okuzza essuubi mu mitima gya Bannayuganda?
Ye
Nedda
Simanyi
facebook
Twitter
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Noimg Developed by: logo