Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Amawulire
Abagagga abalina amayumba ag’ebbeeyi kw'okomya amaaso
Jun 11, 2012
Gano ga mugagga Haji Mutaasa Kafeero agasangibwa e Nakwero.
  • Share
  • mail
  • img

Bya Musasi Waffe

ABAGAGGA balaze amaanyi mu kugugumula ggoloofa mwe basula era ezimu zitudde ku bwagaagavu bw’ettaka erisussa yiika ettaano.

Ennyumba zino zitemya ng’omuntu era bazitaddemu eby’okwejalabya bingi okuli ebidiba mwe bawugira, ekifo mwe beeyoteza kw’ossa empya ez’ebimuli kw’okomya amaaso!

Ezimu za kalina wabula mulimu n’ezitali za kalina ng’eya Haji Mutaasa Kafeero ey’e Nakwero naye nga ziyooyooteddwa mu ng’eri ey’omulembe.

Abagagga bano mulimu abasuubuzi abalina amaka ag’amaanyi ng’aga Godfrey Kirumira e Kansanga, Guster Lule Ntake e Lubowa, John Ssebalamu e Bwebajja, Drake Lubega e Muyenga n’abalala; abasumba: Robert Kayanja ku lubalama lw’ennyanja e Ggaba, aga Jackson Ssenyonga e Kololo ne Jamada Kikomeko e Kikaaya Bulenga n’abalala; abayimbi nga Bobi Wine e Magere ku lw’e Gayaza ne bannabyabufuzi nga Mike Mukula e Bugoloobi ne Jim Muhwezi. Muhwezi eyiye eri mu kyalo Kanungu kyokka ng’etudde ku lusozi lulamba oluwezaako yiika nga 20 kyokka nga lwonna yalwetoloza bbugwe owa bbulooka ezaakayibwako nnayininayini.

Amaka ga Wavamunno (mu katono) awasonze akasaale. Wansi okumpi n’ennyanja z’ennyumba z’abagenyi be.

Ennyumba ezimu zibalirirwa mu bukadde obuli wakati wa 600 n’obuwumbi obubiri n’okusingawo era ezimu zirimu ebisenge ebisulwamu ebisukka 30.

EYA WAVAMUNNO ERIMU LIFUTI
Gordon Wavamunno eyazimba kalina eriko emyaliiro 4 ng’egimu yagiteeka wansi mu ttaka e Munyonyo. Eno eriraanye ekifo eyali Pulezidenti wa Uganda, Idi Amin Dada we yacakaliranga kye yali atuumye “Jjajja Vilas” mu myaka gy’e 70.


Amaka g’Omusumba Kayanja e Ggaba ku lubalama lw’ennyanja.

Amaka ga Haji Jamada Ssebanakitta eyakazibwako erya Big Daddy (mu katono) agasangibwa e Nsangi. Y’akola obuwunga bwa Busagazi.


Goloofa ya Kirumira.

Oluvannyuma Amin yakyusa ekifo kino erinnya n’akituuma Cape Town Villas olwa bakalibusosoze abaali bafuga South Africa mu kiseera ekyo era nga Cape Town ky’ekyali ekibuga ekikulu eky’eggwanga lino nga mu kutuuma ekifo ekino erinnya eryo Amin yali abasoomooza nti abawambyeko ekibuga kyabwe.

Ennyumba ya Wavamunno erina ebisenge ebisulwamu ebisoba mu 30 era eriko lifuti ezikuggya ku myaliiro egy’omu ttaka okukwambusa ku myaliiro egya waggulu.

Charles Mbiire eyazimba ennyumba e Kololo, omugenzi Col. Muammar Gaddafi mwe yateranga okusula ng’azze mu Uganda. Alina n’endala ey’ebbeeyi e Kabale.


Enju y’omugagga Haji Swaib  Nseera esangibwa e Buziga. Ono ye nnannyini Sisa Acarde mu kibuga Kampala.

Amaka g’eyali ssentebe wa Wakiso, Ying. Ian Kyeyune (mu katono).


Amaka ga Minisita w’abavubuka, Ronald Kibuule agali e Mukono galina ekidiba ekiwugirwamu.

ABEBIZIGO NABO BAVUGANYA
Abalala kuliko abagagga bannannyini kkampuni ezikola ebizigo okuli: Simpson Birungi nnannyini kkampuni y’ebizigo bya Movit ne Ssaalongo Kasawuli nannyini Samona gye yazimba e Kibanga mu Mawokota n’endala e Busega mu Kampala, Habib Kagimu, omugagga w’ebizigo bya Go Gay gye yazimba e Matugga. Abagagga abalala abalina amayumba ag’amaanyi kuliko: Logeous Matovu amanyiddwa nga Youma gye yazimba e Muyenga, eya Kasiiwuukira e Muyenga, Mike Mukula gye yazimba e Bugoloobi, Yiga owa Steel and Tube ne Biyinzika ow’obukoko gy’alina e Mutungo.
 

blog comments powered by Disqus
MICHO: ‘Nzize kutuusa Cranes mu nsi ensuubize’ . Olowooza Micho anaatuusa Cranes mu nsi ensuub
Ye
Nedda
Simanyi
facebook
Twitter
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Developed by: