Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Okubuulirira Abalenzi
Mwambale bulungi nga mugenda ku buko
Jun 12, 2012
  • Share
  • mail
  • img

BATABANI muli mutya. Mwebale emirimu n’okulaga bawala bange omukwano. Buli lw’ofuna omukyala n’ogenda ewaabwe n’okyala oba n’omukuba empeta olina eddaala ly’ogendako n’engeri abantu gye bakulabamu.

Mulina ebintu bye mulina okwewala nga mugenda ku buko gye muwasa bakyala bammwe. Bw’oba toyambadde kkanzu oba essuuti ng’oli mu bikalu, weewale okusiba bbaalansi, okwambala engoye ezikukwata ennyo z’oyinza okuyita eze ‘swagga’ n’empale ennyimpi ng’owoza nti ye nnyambala eri ku mulembe.

Kye mulina okumanya nti ekyambalo ky’obuko kkanzu kubanga ekubikka wenna nga ne bw’oba weerabidde okusiba eppeesa ly’empale oba tojja kuswala.

Buli lw’oyambala obubi abantu gy’ogenze bakuyisaamu amaaso era bakutwala nga ow’okuzannyisa. Oyo katemba gw’oyagala okukola mutwale mu maka go.

Ekirala olina okukimanya nti eyo gye waggya mukyala wo waliyo bato be be walekayo n’olwekyo olina okugezaako okulaba nga weewa ekitiibwa.

blog comments powered by Disqus
Katikkiro Mayiga yanditandikidde ku ki mu kisanja kye nga Katikkiro?
1. Okubanja Ebyaffe
2. Okuzzaawo amasiro n’okutumbula ebifo eby’obuwangwa
3. Kuteekawo pulojekiti z’ebyenkulakulana mu bavubuka ba Buganda
facebook
Twitter
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Developed by: