Bya Henry Ssennyondo
OMUVUBUKA akwatiddwa poliisi e Katwe n’emuggalira nga kigambibwa yabadde akutte ejjinja ng’agenda kulikuba konvoyi y’emmotoka za Pulezidenti Museveni.
Joseph Olino ye yakwatiddwa omusirikale eyabadde ali mu kulawuna ebitundu by’oku ssundiro ly’amafuta e Kibuye n’ejjinja mu ngalo lye yabadde agenda okukuba konvooyi y’emmotoka za Pulezidenti Museveni nga ziyitawo ku makya g’Olwokubiri.
Olino bwe yakwatiddwa, yakkiriza mu maaso ga ofiisa wa poliisi nti “ye mbadde njagala kukuba Muzeeyi Museveni”.
Baamuwalabanyizza okumutuusa ewa DPC wa poliisi y’e Katwe (SP) Richard Ecega eyategeezezza nti Olino ono yandibaako ekikyamu ku mutwe.
“Endabika ye eringa alina ekizibu ku mutwe” Ecega bwe yategeezezza n’alagira ajira assibwe mu kadduukulu ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.