Bya BASASI BAFFE JUBA, Sudan
EBIZUUSE ku muwala Munnayuganda agambibwa okufuuka omusota e Juba, bitadde omusamize w’e South Sudan mu kattu, Poliisi bw’ekizudde nti y’asaasaanya emboozi eno alowoozese abantu nti alina amaanyi agasukkulumye ku banne, asobole okwefunira bakaasitooma.
Omusawo w’ekinnansi Omuzambi y’anoonyezebwa abitebye oluvannyuma lwa poliisi y’e Malakia mu South Sudan okukung’aanya obujulizi obulaga nti y’aseesa mu bigambo ebisaasaanyizibwa nti yaloga omuwala Munnayuganda ayogerwako nti ye Stella n’amufuula omusota ng’amulanga kukuula musajja ow’eggwanga ly’Abadinka.
BYATANDIKA BITYA?
Emboozi y’omuwala okufuuka omusota yatandika ku Lwakuna nga May 31, 2012 mu budde bw’amalya g’ebyemisana mu kabuga Malakia.
Abantu baatandikirawo okukung’aana nga kigambibwa nti omu ku bawala eyali akwatiddwa ekitongole kya SSPS ng’ateeberezebwa okubba ssente z’Omudinka ng’aggaliddwa mu kaduukulu ka poliisi y’e Malakia, ye yali afuuse omusota.
Bakhita Radio ye yasooka okusoma eggulire lino ery’emirimu okusannyalala mu kabuga kano akali ku nkingizzi z’e Juba olw’ebigambibwa nti omusibe omuwala yali afuuse omusota.
Kyokka leediyo eno yassaako amaloboozi g’abakulira poliisi eno nga bakulirwa Justin Brinji nga bategeeza nti tewali musibe yenna afuuse musota nti era bakubye ‘paleedi’ y’abasibe bonna ne babayita linnya ku linnya nga bonna weebali era ne beekebejjebwa ne kikakasibwa nti balamu katebule era okumanya ebisingawo ku kino, genda ku mukutu gwa yintaneti www.bakhatiradio.com
Abaali basaasaanya olugambo bwe baawulira kino ne babikyusaamu olwo ne batandika okutegeeza abantu nti ono teyabadde musibe wabula yaleeteddwa abooluganda lwe okuva mu Arua ng’abalemeredde ne bamuteeka ku poliisi y’e Malakia nti nga baagala ebayambe ebazuulire omusawo w’ekinnansi eyamuloga n’afuuka omusota.
POLIISI EGWA MU LUKWE
Olugambo bwe lweyongedde okusaasaana, poliisi nayo n’etandika okunoonyereza era mu bimu ku by’ezudde mulimu bino:
Waliwo ekkobaane n’abamu ku baserikale baayo abaakolagana n’omusawo w’ekinnansi okussaawo obusenge bubiri obuliraanye poliisi y’e Malakia mwe baabadde bayingiza abantu nti beerabire ku majjankunene gano era nga buli ayingirayo asasuzibwa Paawundi za Sudan 50.
Abantu bano bwe baayingizibwanga mu busenge buno nga bababuuza oba balina amasimu agakwata ebifaananyi, nti babateereko ekifaananyi ky’omuwala nga babamatizza nti kyabulabe okumutuukako era ku masimu gano kwe baabateera ka vidiyo nga bakozesa kompyuta z’ekika kya Laptop ze baali batadde mu kasenge akookubiri, abantu mwe bataatuukanga.
Ka vidiyo ke baabateereddeko kayitibwa Half Snake Half Woman akaakolerwa mu Indonesia mu February 2010 era osobola okukafunira ku mukutu gwa www.youtube.com ku yintaneti. Guno si gwe mulundi ogusoose ka vidiyo kano okusasamaza abantu era mu Ghana kaakozesebwa Omusumba omufere Adelaide Ama nga September 7, 2010 e Tafo ku nkingizzi z’ekibuga
Kumasi bwe yategeeza nti omuwala Abena Agyeiwaa eyali avudde e Mampong n’ajja ku kkanisa okusabirwa, yali afuuse omusota ekyaviirako abantu okweyiwa ku kkanisa; kyokka poliisi bwe yanoonyereza n’ekwata omuwala ono n’attottola nti baali basibye ‘kiwaani’.

Ebifaananyi ebiragibwa ng’omuwala eyafuuka omusota. Waggulu ku kkono baali mu Nigeria ku kifaananyi kye kimu ekigambibwa nti ye muwala eyafuuka omusota.
Poliisi y’e Malakia bwe yaggadde obusenge obubiri buno obwabadde bukozesebwa okufera abantu, olwo abafere kwe kutegeeza bonna abaabadde bajja okwerabira ku muwala eyafuuse omusota nti atwaliddwa emmotoka za UN nti era kati
Abazungu bamukuumira mu nkambi yaabwe ey’e Yambio. Ekyaggumizza kino, kwe kubeera ng’emmotoka z’ebitongole by’obwannakyewa nnyingi omuli eza WHO, The World and I, zaagenda ku poliisi okuzuula ekituufu ekyali kiviiriddeko abantu okukung’aana kyokka bwe zitaasangawo kintu kya maanyi kwe kweddirayo, olwo abafere ne bategeeza abantu nti ze zitutte omulwadde.
Bambega ba poliisi bazudde nti omusawo w’ekinnansi ali mu lukwe luno ali ku kyalo Masia mu Western Equatorial State ng’ava mu ggwanga ly’Abazambi, Abasudani lye batya ennyo nti mukuloga lyekansa, era liri mu ttuluba lyerimu abantu wano lye balabiramu Abaziba ate abalala bagamba nti Omusawo ono Munnayuganda eyagenda okwekolera ensimbi ne yeeyita ava ku ggwanga Abasudan lye batya.
Omusamize ono akola ku balwadde nga yeeyambisa emisota nti era okufuna ekirowoozo kino, abafere ababeera ennyo ku yintaneti baamaze kumutuukirira ne bamuwa ekirowoozo era ne bamulaga ka vidiyo kano n’akkiriza okukolagana nabo, olwo bbo bafunemu ssente ez’amangu ate ye afune bakaasitooma. Mu March w’omwaka guno, omusawo ono yeekubisa mu mpapula z’amawulire okuli oluyitibwa Gurtong ng’agamba nti yakutte omubbi eyali anyaze edduuka ng’akozesa omusota gwe yamusindikira era ku ggulire lino, abafere kwe baamulabidde ne bamutwalira ddiiru.
Abantu mu Juba bangi bakkiririza mu maanyi g’eddogo ate ng’obubbi nabwo bungi era bangi mu baakung’aanye obwedda bababuuza omusawo eyakoze ekyafaayo kino nga babalagirira ku kyalo Masia nti babuuze omusawo ajjanjabisa omusota!
Embeera mwe byeyolekera
Embeera efaananako bweti etera okujja mu biseera ebizibu omuli obwavu obususse, entalo n’endwadde ezitategeerekeka. Wano mu Uganda nawo ebintu ebifaananko bwe biti bizze bibaawo. Waliwo enfudu eyayogerwako ennyo mu biseera bya Idi Amin kyokka teri muntu n’omu yavaayo n’agamba nti yagirabako.
Ku mulembe gwa Obote waaliwo Embalasaasa eyayogerwako ng’eyaluma Obote nti era yali ajja kufa mu nnaku mbale bubazi kyokka Obote afudde luno jjo ly’abalamu. Waaliwo mu Kampala abantu lwe baatambuza olugambo nti e Katwe waliyo omutwe gw’omuntu ogwogera, kyokka oluvannyuma poliisi yabakwata n’ezuula nga baali bateeka ka tteepu mu kiwaawo kye baazimba ne kifaanana ng’omutwe gw’omuntu baavunaanibwa omusango gw’okufuna ssente mu lukujjukujju n’okubuzaabuza abantu.
Waliwo ekiseera olugambo lw’akazimu we lwacaakira nti bwe kakuyita ekiro n’oyitaba ab’awaka bonna bafa era nga bwe mweggalira temugeza ne mufuluma, ng’okukaziyiza okutuuka ewuwo oteeka omusalaaba ku kkubo erikyama. Kigambibwa nti luno lwali lukujjukujju lw’abayeekera abaayagalanga obutalabibwa.
Ebyogeddwa abamanyi
Akulira abasawo b’ekinnansi, Maama Fina, ng’amanyage ye Sylvia Namutebi yategeezezza nti omuntu tayinza kufuuka musota mu ngeri eyo.
Yatangaazizza nti ebiragibwa bikolebwa bamafiya n’abazannyi ba firimu nga bwe mubiraba mu firimu z’ekinigeria nga bakozesa kompyuta okusanyusa oba okutiisa abalabi nti kyokka n’omusawo ow’ebicupili oba omuntu omulala eyeenoonyeza ebibye asobola okukozesa ebifaananyi bino ebikoleddwa kompyuta okukwata abalala obujega.
Ate akulira ebyobujjanjabi mu Doctors Medical Centre , Bulenga -Ggogonya Dr Conel Oziraye yategeezezza nti eby’omuntu okufuuka omusota mu ssaayansi si bituufu nti kubanga obusimo obukola omuntu bwawufu ku bw’omusota n’olwekyo tekisoboka.Yannyonnyodde nti ekibooziboozi ekyengeri eno kyongera okulaga bwekiri ekyekiwaani.