Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Amawulire
Omwana ababbi gwe beeyambisa avuluze abapoliisi " Muli basiru"
Kampala | Jun 21, 2012
Akulira Poliisi y''''''''oku William Oribariho ng''''''''asoya Isma Ssentongo amanyiddwa nga Kiwok
  • Share
  • mail
  • img

Bya MOSES LEMISA

POLIISI y'oku Kaleerwe ekutte omwana abadde yeeyambisibwa ababbi okumenya amayumba n'amaduuka.

Isma Ssentongo 13 kyokka ng'alina n'erinnya lw'omulimu erya 'Kiwoko' asula Kanyanya ng'ono aludde ng'anoonyezebwa Poliisi era ku Lwokubiri yasooka n'akwatibwa kyokka n'atoloka ku bapoliisi 

Ku Lwokusatu akulira ba mbega ba Poliisi Willex Ojiambo yakoze ekikwekweto ky'okunoonya Ssentongo yekka okutuusa lwe bamukutte n'ayogera ne bakama be n'okuluka pulaani engeri gye banabbamu.

Ssentongo bw'omusanga tomusuubira kuba mubbi naye nga n'okunywa enjaga akwata kisooka.

Ng'atuusiddwa ku poliisi yasoose n'avuma abasirikale "Mwe Abapoliisi muli basiru kati ekinkwasiza kye ki kuba nze bankozesa bukozesa , wadde mu nkutte eno ensi ekyuka essaawa yonna. Nze Kiwoko gwe mukutte omuto bw'ati kale munnanga ki? Kale kasita Mukama wange Kiwoko omukulu akyaliyo" Bw'atyo Ssentongo bwe yavuluze abasirikale.

Oluvanyuma Ssentongo yalabye abasirikale balemeddeko okumwongerayo ku Poliisi y'e Wandegeya n'atandika okubabuulira ebyama "Afande naliko omubbi ng'abasuubuzi n'abatuuze bankaaba naye kati nabivaako ntikkula nnaanansi ku mmotoka , naye nga nnina bakama bange be tuli nabo mu kibinja okuli , Peter  Muwonge, Fuuti Mubiru n'abalala bangi" Bw'atyo Ssentongo bwe yategeezezza.

Ssentongo ababbi babadde bamukozesa okuketta mu nnyumba z'abatuuze n'amaduuka okulaba ebintu ebirimu, olwo bwe buziba yasooka ku misoni n'alaba oba banaasobola okubba ekiro ekyo.

Abasuubuzi ku Kaleerwe bulijjo bamwasimula bugolo era baabadde basanyufu Poliisi okumukwatwa. "Oyo omwana Ssentongo eyeeyita Kiwoko atubbidde ebbanga ddene .Olumu abadde yeefula asaba obuyambi n'akonkona enju z'abatuuze mu matumbi budde bwe kakutanda n'oggulawo nti oyambe omwana ng'ababbi bayingra" Omu ku batuuze bwe yategeezezza.

Akulira Poliisi y'oku Kaleerwe William Oribariho yagambye nti Ssentongo bagenda ku mutwala mu kkooti y'abaana abato avunaanibwe omusango ogwamuguddwaako ku fayiro nnamba SD REF 17/20/06/20.

blog comments powered by Disqus
Katikkiro Mayiga yanditandikidde ku ki mu kisanja kye nga Katikkiro?
1. Okubanja Ebyaffe
2. Okuzzaawo amasiro n’okutumbula ebifo eby’obuwangwa
3. Kuteekawo pulojekiti z’ebyenkulakulana mu bavubuka ba Buganda
facebook
Twitter
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Developed by: