Bya martin Ndijjo
“ABALOWOOZA nti nnaggwaamu mbasekeredde, ate kati nzizze na nkuba mpya. Nnina okulya obulamu pakalasiti obwa nnakawere tonnyumiza...”
Bwatyo Bad Black bwe yeewanye bwe yabadde atutte omulenzi omupya awutu mu Bahamas Night oba giyite bbiici y’oku lukalu. Entujjo eno etegekebwa Sean Ndawula. Ku luno yabadde mu Club Silk ku Lwokuna ekiro.
Black yayingiddewo ku ssaawa 5:30 ez’ekiro ng’ali n’omulenzi we eyeeyise Mension. Bajjidde mu mmotoka y’ekika kya Audi.
Black olwayingidde, kalabaalaba n’alagira DJ asirise ku ndongo olwo n’alangirira nti, “okumanya ekifo kikutte omuliro, ne Black tuli naye...’, olwo endongo n’esindogoma bupya.
Bawala ba Black be yacakalanga naye baamumazeemaze era olwabatuuseeko ne bamwaniriza n’essanyu.
Black yazze ayambadde obugoye bw’obutimba obuddugavu n’engatto eza pinki.
Okukakasa nti tannaggawamu yabadde ne bakanyama abamukuuma, era yatuulidde ddala ku kawunta ng’akola gwa kusunda byakunywa nga bwe bw’-abiweereza abaagala.

Black ng’ayingiddewo.

Abawala ba Black nga bamusanyukira.
.jpg)
Debby Sempaka (ku ddyo) ne mukwano gwe mu Bahamas Night.